Obadde okimanyi nti olweyo olunene lukkakkanya aniya
Feb 23, 2023
KISOBOKA okwebaka nga tolina wakuluma, ogenda okuwawamuka mu matumbi budde nga aniya akusimbye.Aniya bw’akusimba akumalako emirembe era okukutama, okukutaamulukuka n’okuva mu buliri luba lutalo, era bw’agayaalirwa atta, okusinziira ku Alex Badhikube ow’e Buwenge Mpya mu kibuga ky’e Kamuli.

NewVision Reporter
@NewVision
KISOBOKA okwebaka nga tolina wakuluma, ogenda okuwawamuka mu matumbi budde nga aniya akusimbye.
Aniya bw’akusimba akumalako emirembe era okukutama, okukutaamulukuka n’okuva mu buliri luba lutalo, era bw’agayaalirwa atta, okusinziira ku Alex Badhikube ow’e Buwenge Mpya mu kibuga ky’e Kamuli.
Badhikube agamba nti, aniya bw’attuka, oddira emirandira egy’olweyo olunene, egy’omutonto, n’egy’olusunsuni
(ekifumufumu) n’ebibajjo eby’ekinalisa n’ofumbira wamu.
Ekirungo bwe kiggya, omulwadde muwe akatundu ka ggama anywe, mu ddakiika 30 ajja kubejjagala amale aseseme, mu ssaawa 3 ku 4 ajja kuba ateredde, era enkeera kyangu n’okukwata enkumbi oba okukola emirimu gyo
No Comment