Abasiraamu basabiddwa okwekwata Esswala za Sunnah mu kisiibo kino beefunire empeera okuva eri Allah

Mar 27, 2023

ABASIRAAMU basabiddwa okwekwata ku sswala za Sunnah mu kiseera kino eky’ekisiibo kibayambeko okweyoolera empeera enkumu mu kiseera kino.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Huzaima Kaweesa

ABASIRAAMU basabiddwa okwekwata ku sswala za Sunnah mu kiseera kino eky’ekisiibo kibayambeko okweyoolera empeera enkumu mu kiseera kino.

Okusaba kuno kukoleddwa omumyuka wa Imam ku Mutungo - Mbuya Masjid Community mu Nakawa.

Ono agamba nti omuntu yandibadde yeekwata ekiseera kya Ramadhan okusaaliramu ennyo Esswala za Sunnah kubanga singa omuntu agisaala abalibwa ng’ asadde eya Faradha (ey’obuwaze) bw’ogeraageranya empeera ezigirimu.

Sheikh Mambo atulambululidde ku zimu ku Swalah za Sunnah omuntu z’asobola okwekwatako ennyo mu kisiibo kino n’ayoola empeera.

EZIMU KU SWALAH ZA SUNNAH OMUNTU Z’ASOBOLA OKWEKWATAKO MU KISIIBO

  1. I)Swalat Taraweeh;eno esaalibwa mu Ramadhan olvannyuma lw’esswala ya Isha nga ku mulembe gwa Nabbi Muhammad (S.A.W) yasaalibwanga nga ya laaka 11 empanvu newankubadde nga oluvannyuma yazzibwa ku laaka 21 ennyimpimpi. Zino zisaalibwa mu bitundutundu ng’ osobola okusaala laka 2 nga bw’osaza Salaam n’oluvannyuma n’osembyayo laaka 1 oba 3 eza Witir.
  2. II)Kaburiyah ne B’adiyay (olubereberye n’oluvannyuma); zino zisaalibwa nga tonnaba kusaala swalah ya Faradha oba oluvannyuma lwayo. Okugeza osobola okugisala nga tonnaba kusala Swalah ya Subuh. Zino Nabbi yazoogerako nti ‘’Singa omuntu azisaala, ebirungi by’afuna bisinga ensi n’ebigirimu’’. Kyokka zino tezisaalibwa  ku swalah ya Asir.

III)   Swalat Witir; Eno esaalibwa mu laaka ez’ensusuuba ng’ eno ebeerawo oluvannyuma lwa Isha . Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti ‘’Mufuule esswala yammwe eggalawo olunaku nga ya Witir’’.

  1. IV)Swalat Lail ;Eno esaalibwa mu matumbi budde ng’ esobola okubeerawo wakati w’essaawa 9:00 ogw’ekiro okutuusa Subuh lw’etuuka.  Nabbi yagamba nti ‘’Esswalah esinga obulungi oluvannyuma lw’eza Faradha ye Swalat Lail’’. Eno esaalibwa mu laka 2 era buli ky’osaba Allah akyanukula.
  2. V)Swalat Dhuha;Eno esaalibwa wakati nga enjuba esituse mu kigero ky’effumu ppaka  nga tennatuuka wakati w’eggulu. Wano we wakati w’essaawa 2:00 ez’oku makya ne ssaawa 6:00 mu ttuntu. Eno Nabbi yagyogerako nga Eswala y’abenenyi era n’atusuubiza nti Allah ayanukuliramu nnyo. Eno esaalibwa mu laka ezitali za nsusuuba mu muwendo gw’oyagadde.
  3. VI)Swalat Taubah;eno ya kwenenya era nga esaalibwa buli kadde okuggyako ng’ enjuba esituka, ng’ etuuse wakati w’eggulu oba ng’ egwa.

VII)    Tahiyatul Masjid; Zino zibeera laaka 2 nga zisaalibwa ng’ omuntu yaakatuuka mu muzikiti nga tannaba kutuula.

VIII)   Swalat Wudhu; eno ebeera ya laaka bbiri ng’ esaalibwa luvannyuma lwa kufuna Wudhu.

  1. IX)Swalat Haajah;Eno ebeera ya laaka 2 ng’esaalibwa omuntu abeera alina ekyetaago.
  2. X)Swalat Istihal;Eno esswala ebeera ya kwebuuza ku Allah era singa omuntu agisaala Allah amuwa okusalawo okutuufu ku ekyo ky’aba amwebuzaako. Eno nayo ya laaka 2.
  3. XI)Swalat Tasibih ; Eno ebeera ya kutendereza Allah nga ya laaka 2 nga buli luvannyuma lwa buli kiyuno otenderezaawo Allah n’ebigambo ‘’Subuhanallah , Alihamudulillah ,Lailaha Illah Allah, Allahu Akbar’’ .

Emigaso gy’okusaala esswala za Sunnah mu Ramadhan

- Zino zijuuliriza Esswala ez’obuwaze etaano ezirina okusaalibwa buli lunaku naddala singa omuntu abeera yazikooleddemu ensobi.

- Zongeza ku muwendo gw’empeera omuntu z’alina okufuna okusinga ku oyo atazisadde.

- Buli lw’ozekwatako ofuna obwangu mu Swalah za Faradha kubanga obeera omanyidde okusaala.

 Sheikh Mambo akuutidde Abasiraamu okwettanira okusala esswala zonna mu mwezi guno ogwa Ramadhan kubanga buli Swalah ya Faradha gy’osala ekubisibwamu emirundi 70 ate eya Sunnah ne balibwa nga eya Faradha.

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});