Engeri Uganda gy'ekozesezza endwadde ezibabukawo okutumbula eby'obulamu
Jun 15, 2023
OBULWADDE bwa ssennyiga omukambwe, COVID-19, bwavaako gavumenti ya Uganda okufuna ssente okuva mu Bbanka y’ensi yonna okunyweza ebyobulamu n’okutumbula n’okukuuma abantu nga balamu.

NewVision Reporter
@NewVision
OBULWADDE bwa ssennyiga omukambwe, COVID-19, bwavaako gavumenti ya Uganda okufuna ssente okuva mu Bbanka y’ensi yonna okunyweza ebyobulamu n’okutumbula n’okukuuma abantu nga balamu.
Ssente zino zaalina kukozesebwa okutangira, okulabirira abakwatiddwa obulwadde okubutangira okusaasaanira mu bantu abalala n’okukola ku mbeera eggwaawo nga teraze.
Gavumenti yateekawo akakiiko okulondoola emirimu gino okusobola okutangira, okwekengera ebiyinza okujja n’okunyweza enkola z’ebyobulamu mu ggwanga.
Amawanga mangi gakyalwana okudda engulu olwa ssennyiga omukambwe, COVID-19 eyabalukawo wakati wa 2019-2022 n’agoya ebyobulamu n’ebyenfuna. Wabula Uganda ekyatwalibwa nga ekyokulabirako ekiwa essuubi olw’enkola ze yateekawo okwahhanga obulwadde buno.
Minisitule y’ebyobulamu okuyita mu kakiiko ka UCREPP, eyongedde okwenyweza ku ngeri y’okwahhanga endwa ezigwawo obugwi. Mulimu enkola ey’okwekengera ebiyinza okugwawo n’okumanya ekiyinza okukolebwa bwe bigwawo.
Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu, Dr Diana Atwine agamba nti, obuyambi bwonna bwe baafuna okuva mu bantu n’ebitongole eby’enjawulo bwakozesebwa okugonjoola embeera enzibu eyaliwo ne butuuka ku baalina okubufuna.
“Kituufu minisitule y’ebyobulamu yalwanyisa ssennyiga omukambwe n’emuwangula era munajjukira nti, mu March 2023, ekitongole ky’ebyobulamu mu Nsi yonna kyalangirira ne kiggya COVID-19 ku lukalala lw’endwadde enkambwe ezisattiza ensi,”
Dr. Atwine bwe yannyonnyodde.
Dr Michael Mwanga, omukwanaganya w’emirimu mu pulojekiti ya UCREPP, yeenyumiriza mu bituukiddwaako. “Tufunye eddagala erigema n’okutumbula labalatole ezinoonyereza ku bulwadde buno mu malwaliro g’ebitundu nga Lira ne Fort Portal zaafuna ebyuma ebikozesebwa eby’omulembe nga bya nkizo.
Alina essuubi nti, ekiseera kya December 2024 we kinaatuukira bagenda kuba nga batuuse ku bigendererwa bya pulojekiti eno
byonna.
April w’omwaka guno lwe twatemye evvuunike okutandika okuzimba labalatole zino ez’omulembe era mu kaweefune w’okunyweza ebyobulamu, okwetooloola eggwanga nga tuddaabiriza ebifo by’ebyobulamu n’okuzimba ebipya nga bwe twongeramu ebikozesebwa.
Mu nsi yonna, labalatole zikola kinene mu kutangira n’okuzuula endwadde wamu n’okumanya bwe zirina okukwatibwamu nga bwe kyali mu kulwanyisa Ebola. Ekitongole ky’ebibalo n’emiwendo (Uganda Bureau of Statistics) kirina labalatole era zaakuyamba mu kukuhhaanya ebikwata ku ndwadde zino.
Bye zikuhhaanya byakukozesebwa mu kunoonyereza okwomusanvu okwa “Uganda Demographic and Health Survey”, okumanya ebifo mwe balina okusenza abanoonyi b’obubudamu, okutangira endwadde ze bayinza okujja nazo wamu n’okukuuma obutonde bw’ensi.
Okugema Ssennyiga Omukambwe Kwataasa Abantu Bangi Ku Bulwadde Buno, Bwe Kwasembezebwa Kumpi N’abantu Mu Bitundu Byabwe Ne Kibanguyira Okwegemesa.
Ebirala ebituukiddwaako mu pulojekiti eno kuliko; Ekifo awatuukira abalwadde, mateneti, woodi ey’olukale ku malwaliro nga Mbale, Mbarara, ne Moroto zaakakasibwa ku mutindo gw’ensi yonna.
Amalwaliro n’ebifo by’ebyobulamu 14 mu disitulikiti, Morobi /Belle Health Refugee Settlement mu Adjumani, ekifo we bakuumira be beekengedde okubeera n’endwadde ku ddwaaliro e Mulago.
Okwo ogattako amalwaliro ku mutendera gwa Health Centre II ne III: ldiwa Health Centre lI, Luru Health Centre IlI mu disitulikiti y’e Obongi, Twajiji Health Centre.
lgamara Health Centre Ill mu nkambi y’abanoonya obubudamu e Bidi bidi disitulikiti y’e Yumbe, Kikurura Health IlI mu nkambi ya Rwamwanja Refugee Mutukula ne ku nsalo e Katuna;
Kabazana Health Centre II, Ruhoko Health Centre lll e Isingiro: Mombasa Health Centre IIl e Kyangwali Kikuube ne Uriama Health Centre ll e Ivempi Refugee Settlement, Terego.
Okuyita mu pulojekiti eno, ebyo ebituukiddwaako bongeddeko okuzimba ebifo we bajjanjabira abayi Intensive Care Units (ICUs) mu malwaliro okuli; Arua, Hoima ne Kabale.
Baguze ebyuma n’ebitanda ebikozesebwa mu bifo gye bajjanjabira abayi era byakuteekebwa mu malwaliro; Mulago, Entebbe, Hoima, Kabale, Soroti, Moroto, Lira, Gulu, Arua ne Mubende.
Ebifo ebikola omukka ogukozesebwa mu malwaliro bizimbiddwa e Mbarara, Entebbe ne Mulago.
Kinajjukirwa nti, Uganda yalumbibwa Ebola omwaka oguwedde abantu 142 ne bakakasibwa okukwatibwa obulwadde 56 ne bafa. Minisitule y’ebyobulamu ng’eyambibwako UCREPP era we twatuukidde January 1, 2023 ng’ekirwadde tukiwangudde Uganda n’erangirirwa nti, tekyalimu kirwadde kino.
Ebiseera by’obulwadde waaliwo ebbula ly’omusaayi mu bifo ebimu era UCREPP yakwatagana ne Uganda Blood Transfusion, ne bakuhhaanya Unit z’omusaayi 346,947 okwetooloola eggwanga.
Okutuuka mu bitundu ebizibu, baguze ambyulensi 44 okuli ez’oku mazzi ne ku luguudo za kutuuka mu bifo omwaka guno we guggweerako.
No Comment