Ssanyu: Eno ffiga gye nnina waliwo emirimu gy’etekola !

Jul 26, 2023

Jacinta Nakyeyune akubuuzaako.

NewVision Reporter
@NewVision

Nakyeyune ndyose ne nkusanga! Lwaki luli nabayitako ne mikwano gyo ne mukuba obukule ng’ate muntunuulidde?

Nkimanyi ommanyi nnyo naye tetuli mu lumbe. Mpita Jacinta, ebya Nakyeyune linda nga tugenze mu kumanyagana.

Kasita gonna gago era tonziggya ku mulamwa. Njagala kumanya kye mwali mungeyaako lwe nabayitako...

Naawe omala kumbuulira, lwe nabayitako nga muli ne ba Kibirango muzannya amatatu, mwali munjogerako ki?

Baali bagamba mbu wamma tokyasulayo ewammwe, wafumbirwa dda ng’ate tonnaba kutuuka?

Nafumbirwa ddi? Nnali mbayiseeko ku mukolo gw’embaga yange? Ggwe jjangu ewa taata John Ssenyonga olabe bw’ontonsangeyo.

Ewa mwami Ssenyonga gy’obeera, oyagala basooke bakusenza luti olyoke okitegeere nti okuze?

Omwana takula mu maaso ga bakadde be, nja kufumbirwa ng’akaseera katuuse.

Naye okimanyi wandibadde wava dda awaka awo naye embwa z’ewammwe zaayitiriza okubeera enkambwe n’okuboggolera buli akusemberera?

Hahahaha... anti tezaagala munnyonoone. Njagala omuntu nga mweteefuteefu okubeera nange, si by’akulozaako adduke.

Ka nkubuuze, lwaki abavubuka baakuno abasinga bakwogerera mbu obeeragirako olinga ow’akagatto akamu?

Abasinga bakozesa ebitamiiza n’ebiragalalagala ate nze sikolagana na muntu abikozesa.

Naye eky’amazima olina empisa ez’omu bantu, muntu ki oyo gw’ogamba nti taba kuba ye, singa wayonooneka dda?

Maama Passy Ssenyonga, yakola kinene okulaba nga nvaamu omuntu.

Mu mirimu gyonna egiri mu ggwanga, mulimu ki gw’otogenda kukola ne bwe guba gusasula kiralu?

Eno ffiga eyange n’obulungi bwe ndiko sisobola kukola mulimu gwa mukombabbookisi.

Kintu ki omuntu ky’ayinza okukukola n’otoddamu kumunyega kigambo wadde okumuwa ka jjambo?

Omuntu okunsuubiza n’atatuukiriza waakiri olekerayo ne mmanyirirwa.

Mwami Ssenyonga ne mukyala we bakuliisa ki ekyo ekikunyiriza bwe kityo?

Njagala nnyo omuceere n’obummonde obuzungu.

Omuntu akwegwanyiza okukuwasa, muze ki gw’alina okuleka ng’agusibye ku nkondo y’ekitanda bw’aba waakuwangaala naawe?

Sikolagana na musajja mwenzi, obeera onoonya ki ku mulala, nze kye sirina...

Kintu ki omuntu ky’ayinza okukukolera n’asumulula omutima gwo gw’omaze ebbanga ng’osibyeko kuffulu?

Njagala okulambula n’okuntwalako ku bubaga bwa ‘picnic’.

Kati singa nsinziira obulungi, nsi ki gye wandyagadde nkutwalemu ng’ akamu ku bukwakkulizo bwe nnyinza okuyitamu okukufuna?

Njagala nnyo okufa nga ntuuseeko mu Switzerland.

Kintu ki ekisinga okukutiisa nga buli lw’okirabako omera olutiko?

Okulaba bazadde bange nga si basanyufu, nga waliwo ekibeeraliikiriza kimpisa bubi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});