Ebintu 6 ebivaako mmotoka okucamuka
Oct 17, 2023
EMMOTOKA okucamuka nga eri ku luguudo kya bulabe kubanga oluusi kivaako emmotoka okuzikira omulundi gumu ku luguudo ekiyinza n’okuvaako akabenje.

NewVision Reporter
@NewVision
EMMOTOKA okucamuka nga eri ku luguudo kya bulabe kubanga oluusi kivaako emmotoka okuzikira omulundi gumu ku luguudo ekiyinza n’okuvaako akabenje.
Amos Mutumba Nsereko, nga makanika wa mmotoka ku M.A Spare Parts & Garage e Luzira agamba nti, omuntu ng’avuga ekidduka alina okubeera ng’atunula ku kuuma
akapima ebbugumu ly’emmotoka akamanyiddwa nga ‘Temperature guage’ akasangibwa ku ‘Dashboard’.
Singa akalimi kalinnya waggulu ne kayita mu makkati kitegeeza nti, emmotoka ecamuse nga olina okugyekebejja okumanya obuzibu we buva otereezeewo.
EBIVAAKO EMMOTOKA OKUCAMUKA
Amazzi okuggwa mu ladiyeeta n’okubeera encaafu: Amazzi mu ladiyeeta gayamba okukkakkanya ebbugumu mu yingini, singa tegabaamu emmotoka ecamuka.
Ladiyeeta okuggyako ekituli: kino nakyo kivaako emmotoka okucamuka kubanga ekidduka kibeera kivudde mu mbeera zaakyo entuufu.
Okuyisa kwa ‘Horse pipe’: Zinobuli lwe zibeera nga ziyisa kitegeeza nti, ekidduka kivudde mu mbeera zaakyo entuufu nga kino nakyo kivaako emmotoka okucamuka.
Obukopo bwa yingini okuyisa amazzi: Buli obukopo lwe buyisa amazzi kitegeeza nti, amazzi gano gabeera gagenda kufuluma wabweru mu kifo ky’okwetooloolera munda
okukkakkanya ebbugumu.
Ebintu 6 ebivaako mmotoka okucamuka Okukaddiwa kw’ebyuma ebimu: Singa ebyuma bikaddiwa okugeza nga ‘water pump’ n’ekutukako obuwujjo n’okutonnya nakyo kireetera emmotoka okucamuka.
Faani okulemererwa okweteekako: Faani erina okukuba empewo nga egizza ku yingini okutangira okucamuka.
Mutumba ategeezezza nti, okucamuka kw’emmotoka tekigireetera kukwata muliro wabula eremererwa kutambula nga ekireetera emmotoka okukwata omuliro kitera kuva ku ngeri gy’ebeera eyungiddwaamu.
Emmotoka bw’ebeera ecamuse ebeera erina okwanguyirwa kubanga ekyamya bbulooka y’emmotoka wamu n’okuvaako okwonooneka kw’ebyuma ebirala. Emmotoka bw’ecamuka nga toli mukugu mu yo obeera olina kuyimirira n’oyita makanika n’akuyambako okwewala okwongera okwonoona ebintu ebirala.
No Comment