Ennunda y'enkoko ennansi eneekuwa ssente
Jan 15, 2024
ENKOKO ennansi y’emu ku bizinensi ezirina akatale kyokka ekyali wansi olw’abantu okugitya nga balowooza nti, enkoko zino tezisobola kulundibwa nga bizinensi olw’okutwala ebbanga eddene okukula.

NewVision Reporter
@NewVision
ENKOKO ennansi y’emu ku bizinensi ezirina akatale kyokka ekyali wansi olw’abantu okugitya nga balowooza nti, enkoko zino tezisobola kulundibwa nga bizinensi olw’okutwala ebbanga eddene okukula.
Wabula Erias Kasumba, omulunzi w’enkoko zino Nabbingo-Kiyanja zooni mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti, enkoko ennansi singa omuntu azirunda nga bizinensi, mulimu ogusobola okumuwa ssente mu bwangu wadde nga bangi ku balunzi b’enkoko mu Uganda balowooza nti, enzungu ze zirimu ssente zokka.
Kasumba alina enkoko ennansi ezisoba mu 1,000 annyonnyola nti, anaafuna mu nkoko zino alina okuzirunda nga bizinensi, n’aziwa obudde n’endabirira nga ebiweebwa enzungu (ez’ennyama oba ezibiika) olwo nazo zikule mu ngeri entuufu.
Bw’otuuka ku ffaamu ya Kasumba weewuunya olw’engeri ey’enjawulo gy’alundamu enkoko ze ne zikula mu bwangu nga bw’akulaga enkoko ez’emyeziesatu owakana okutuusa ng’akulaze ku bitabo ebiraga entambula yaazo omuli lwe zaayalulwa, ebbanga lya bbuluuda, ennaku z’okugema n’ebirala olwo n’okakasa.
“Wadde enkoko zino tezeetaaga kulabirirwa kwa bunkeke nga enzungu, singa ozirabirira obulungi naddala mu mwezi ogusooka, zikulira ku sipiidi enkoko n’etuuka ku myezi esatu gyokka ng’etuuse okutunda okutandikira ku 20,000/- n’okudda waggulu”, Kasumba bw’agamba.
OKWALUZA OBUKOKO
Enkoko ennansi eneekula obulungi etandikira ku magi g’oyaluza.
Okusookera ddala kakasa nti, bamaama abagenda okukuwa amagi ne bataata abakuwa enkwaso balamu bungi.
Singa enkoko zibeeramu obulwadde naddala omusujja, obukoko obwalulwa buba bunafu n’obulala tebwalula era kino kiyinza okuvaako okufuna amagi amazize amangi. Okukakasa nti, amagi gawakisibwa, buli mpanga erina okubeera n’enkazi 50.
Amagi agakuwa obukoko obulamu obulungi kibeera kirungi ne gatasukka wiiki nga tonnagassa mu kyuma. Amagi okulwawo kivaako obukoko okutuuka okwalulwa nga bukooye ate amalala obukoko butandika okwetonda ne bufa olw’obutabeera mu mbeera egasobozesa kwalulwa.
ENDABIRIRA Y’AMAGI AGAALUZIBWA
l Olw’okuba tewannaba ntabula ya mmere ya nkoko nnansi ekakasiddwa, pima obusonko bw’ossa mu mmere ya bamaama kuba singa bubeera bungi nga obussibwa mu mmere y’enkoko z’amagi enzungu, kiremesa amagi okwalulwa kuba ekisosonkole kibeera kigumu ne kiremesa akakoko okukyasa kafulume olwo ne kafiiramu.
l Amagi olina okukakasa nti, tegatonnyako mazzi mu ngeri yonna nga wano kozesa sitiiruwaya omukalu n’ogayisaako okuggyako obucaaafu (kalimbwe).
l Bw’obeera ogassa mu ttule, ekinene kye kitunula waggulu kuba kye kibeeramu empewo eggi gye lissa okusigala nga ddamu era gatereke mu kifo ekiweweevu.
l Bw’obeera tolina kyuma kya bwannannyini kyaluza amagi amagi galambe kuba abalunzi bangi abassaamu amagi gaabwe nga buli ggi lya 200/- okwaluzibwa. Oluvannyuma lw’ennaku 18, ab’ekyuma bakebera amagi gano okuggyamu ago agatabeeramu bwana (agayitibwa Clear eggs).
l Oluvannyuma lw’obukoko okwalulwa, waliwo abakugu abasobola okwawula obukoko
Kasumba ng’agabirira enkoko ze ennansi z’alunda.
buno okumanya obukazi n’obuwanga kyokka tewali nsonga lwaki wanditutte nkazi zokka kuba empanga ze zisooka okukuwa ssente mu myezi esatu ng’enkazi tezinnatandika kubiika ku myezi etaano.
Kakasa nti, enkoko enkazi n’empanga si zaaluganda kubanga bwe ziba zaaluganda obukoko obuyalulwa buyinza bwonna okufa.
Twala obudde okukakasa nga empanga zikola omulimu gwazo. Kino kikole ng’otwalayo eddakiika nga 30 ng’otudde mu kiyumba ky’enkoko okulondoola engeri empanga gye zikolamu ennafu oziggyemu.
ENDABIRIRA ENNUNGI
Kasumba agamba nti, abalunzi b’enkoko ennansi abasinga balowooza nti, zirina kulekebwa zeefeeko ekizikonzibya ne zitwala ebbanga eddene okukula.
“Olina okuzirabirira mu ngeri ya njawulo. Ng’enkoko enzungu, obukoko buno okuva ku lunaku lumu, okutuuka ku mwezi buba mu bbuluuda era buweebwa emmere ey’enjawulo erimu ebiriisa ebibuyamba okukula obulungi kw’ossa okubugema,” Kasumba bw’agamba.
Agamba nti, olw’okuba tewannabaawo ntabula ya mmere ya nkoko nnansi erambikiddwa bakugu, busobola okuweebwa emmere y’enkoko enzungu ez’ennyama okutandika n’ey’ento (Starter) nga tobubalira n’oluvannyuma obusse ku Growers. Kino kigenda kuyamba enkoko zo okukula mu bwangu zikuwe ssente z’oyagala.
Enkoko zigeme obulwadde bwonna obulina okugemebwa mu budde bwabwo okutandikira ku Maliki ku lunaku olusooka nga kino kiyamba enkoko okukula nga nnamu bulungi ate n’obutatawaanyizibwa bulwadde ne mu bukulu. Ekirungi ku nkoko ennansi zitawaanyizibwa nnyo bulwadde bwa musujja bwokka.
Annyonyola nti, ebinywero n’ebiriiro nabyo kakasa nti, ekiseera kyonna bibeera biyonjo okwewala obulwadde obuva ku bucaafu era n’ekiyumba mwe zibeera kikuume nga kiyonjo era nga kikalu ekiseera kyonna.
Singa obeera n’ekifo ekinene, enkoko ennansi zeetaaga okutambulamu n’okwota akasana era bw’obeera n’obusobozi zikubire akatimba mwe zisobola okuzannyira mu biseera by’emisana era zinoonyeze ku muddo nga doodo, akabombo n’ekiddo ky’enkoko ekisimbibwa. Wabula enkoko zino zisobola okulundirwa ne mu kkeegi.
Enkoko zo bw’ozirabirira mu ngeri eno, mu myezi esatu empanga zibeera zituuse okutundibwa ku 20,000/- n’okudda waggulu ate enkazi ku myezi etaano zitandika okusuula amagi.
Kasumba agamba nti enkoko ze tazisalako mimwa kuba enkazi kizikosa ne zitabiika bulungi ate empanga tezisobola kulinnyira ekitegeeza nti, amagi ogenda kufuna masumba agatayalula.
Olw’okuba amagi obeera ogaaluliza mu kyuma, enkoko bw’etandika okukaaba olumaamiro, ginnyike mu mazzi era ogyawule ku zinnaayo kuba singa ogizza mu kiyumba esobolaokukitobya. Gikuumire mu kasenge ako okutuusa ng’esudde eggi erisooka kyokka kasseemu empanga okugisikiriza.
EKIBALO
Kasumba agamba nti, okufunamu wandibadde otandika n’enkoko 500 kuba eddagala erisinga balisiba mu saketi za nkoko 500 nga singa olunda entono ofiirizibwa.
“Okulabirira enkoko 500 okutuuka okutandika okuzifunamu kikwetaagisa obukadde butaano nga muno mulimu okugula obukoko, emmere, ebikozesebwa mu bbuluuda, ng’amanda, abakozi, amasannyalaze, amazzi, eddagala n’ebirala nga buli nkoko obeera ogisaasaanyizzaako 10,000/-,” bw’agamba.
Ku myezi etaano enkoko zo zibeera zikulidde ddala ng’empanga zituuse okutunda ku 20,000/- ate enkazi nga nazo zitandise okubiika.
Kasumba agamba nti, singa ku nkoko 500, obeera wafunako empanga 200, n’ozitunda 20,000/- buli emu, kitegeeza nti, ofuna obukadde buna mu myezi etaano. Kyokka ku ffaamu ye, azitunda ku 50,000/- n’okudda waggulu mu bbanga lye limu, ekitegeeza nti, afuna obukadde 10 n’okudda waggulu mu mpanga ku myezi etaano.
“Mu nkazi 300 ze twasigazza, tusobola okufunamu amagi 220 ze ttule musanvu n’amagi asatu (3) buli lunaku, olwo omwezi ne zibeera ttule 51 okutwaliza awamu. Waliwo abatunda amagi nga ttule eyinza okugula 20,000/- olwo n’ofuna 140,000/- buli lunaku ate omwezi 1,020,000/-. Wabula nze njaluza bukoko nga buli kamu nkatunda 3,000/- ate n’ezikaddiye ne nzitunda ku 20,000/- ne nfuna obukadde mukaaga,” bw’agamba.
BIZINENSI Y’OKWALUZA
Kasumba agamba nti, ku ffaamu ye tatunda magi kuba buli ggi alirabamu kakoko ak’olunaku olumu k’atunda ku 3,000/- nga kagemeddwa Marek, kyokka bw’oyagala okukakukuliza okuweza omwezi kabeera ka 10,000/-.
“Okuva mu ttule omusanvu ze twabaze buli wiiki, obeera n’amagi 1,530 nga buli ggi lyalulirwa 200/-. Singa amagi gaffe gaalulira ku 80 ku 100 kitegeeza nti, tufuna obukoko 1,224. Bwe tubutunda ku 3,000/- buli kamu tufuna 3,672,000/- buli wiiki.
Wano tusobola okuba nga tusaasaanyizza ng’obukadde bubiri buli wiiki okuli; okuliisa enkoko, entambula y’amagi n’obukoko, okugema n’ebirala Kino kitegeeza nti, tusigaza 1,672,000/- ng’amagoba buli wiiki.
AMAGEZI ERI AYAGALA OKUTANDIKA
Abantu bangi naddala mu Uganda bamanyi okucamuukirira ne batandika ebintu nga tebasoose kwetegereza na kukola kunoonyereza kumala ekibaviirako okufiirizibwa ssente ze babissaamu.
Ggwe ayagala okutandika okulunda enkoko ennansi, kibeera kya buvunaanyizibwa okusooka okukyalako ku ffaamu y’omulunzi w’enkoko omulungi obeeko by’oyiga nga tonnaba kutandika kulunda kuba kino kikuyamba okumanya ekituufu ky’olina okukola.
Nze natandika okulunda enkoko mu 1991 nga natandika n’enkoko nzungu kyokka oluvannyuma lw’emyaka nasalawo okubivaako ntandike okulunda enkoko ennansi ze natandika mu 2005 nga nagenda nzigula mpola okuva mu bantu.
Ebbanga lye mmaze nga nnunda enkoko zino, bingi bye nziyizeemu era naawe ayagala okulunda olina okusooka okubaako by’oyiga n’okukakasa nti, ogenda kukikola nga bizinensi kuba singa okikola ng’okuyisa ebiseera ky’osuubira si ky’ogenda okufunamu olwo ogambe nti, tezifuna.
No Comment