SSANYU : Eriiso lyange nange linfumita
Mar 20, 2024
Ssanyu: Shanitah Love Akandinda akubuzaako.

NewVision Reporter
@NewVision
As-salamu Alaykum...
Okiggye ku ki nti ndi musiraamu nze atayambadde nga bo?
Anti ffenna tuli mu kisiibo...
Nze ndi Mukulisitaayo Omulokole.
Ng’olabika oli ku bwangu, odda wa mu musana guno?
hhenda awo ku ‘theater’, nninawo bye hhenda okukola.
Oli muzannyi wa mizannyo?
Nzannya emizannyo, ffirimu n’okukola ogw’obwogezi ku mikolo.
Era obulungi bw’oliko, tebayinza butakusasulira kukulabako?
Mbu ky’ogamba bwe bakutuma abalungi otwala nze?!
Nkutidde, ye lwaki teweesimbawo ku bwannalulungi bwa Uganda?
Wabula ojja kunkozesa ensobi!
Ng’oggyeeko amagulu amalungi g’olina , kitundu ki ekirala ku mubiri gwo nga naawe okyewulira?
Yiiyi, n’amagulu wagalabye dda?
Sooka onziremu kiri, nkubuuze n’ekirala
Eriiso lyange nange nnannyini lyo linkuba okufa obufi.
Ate omwagalwa wo ye akugamba nti osinga kumukubako ki ku mubiri gwo?
Sirina yali ansabye bufumbo mu butongole.
Ky’ogamba tolina muntu?
Ngwa mu kiti ky’abalina essuubi.
Abo be baliwa?
Kitegeeza nnina abamperereza naye tekuli y’antaddeko mpeta era nnina essuubi nti luliba olwo Katonda n’anfunira owange.
Singa Katonda aba waakukuwa, oyagala akuwe kika kya musajja afaanana atya?
Nneetaaga omuntu atya Katonda ananjagala nga bwendi ate ng’ampa ekitiibwa.
Mbuulira ku ffirimu n’emizannyo bye waakazannya?
Kuliko ‘Sesiria’, ‘Prestige’, ‘Ssanyu’, ‘Omuntu mu buntu’, ‘Cease Fire’ n’emirala mingi.
Ozannyira mu kibiina ki?
Sirina kya nkalakkalira wadde nsinga kubeera nnyo mu Theater Factory.
Bw’oba toli mu kuzanya mizannyo, biki by’onyumirwa okukola?
Njagala nnyo okutambula mu bifo eby’enjawulo, okuwuliriza layivu bbandi n’okulya.
Byakulya ki ebyo by’osinga okwagala?
Matooke, muceere, lumonde n’ekyennyanja ekibisi.
Oba nkutwaleko ku kyemisana olye ku kyennyanja ekibisi?
Weebale nnyo mukwano naye ekizibu obudde nninawo butono.
Kati bw’ova eyo odda wa?
E Mengo gye mbeera munnange.
Mbuulira ku linnya lyo nkuviire
Nze Shanitah Love Akandinda
No Comment