SSANYU : Eriiso lyange nange linfumita

Mar 20, 2024

Ssanyu: Shanitah Love Akand­inda akubuzaako.

NewVision Reporter
@NewVision

As-salamu Alaykum...

Okiggye ku ki nti ndi musiraamu nze atayambadde nga bo?

Anti ffenna tuli mu kisiibo...

Nze ndi Mukulisitaayo Omu­lokole.

Ng’olabika oli ku bwangu, odda wa mu musana guno?

hhenda awo ku ‘theater’, nni­nawo bye hhenda okukola.

Oli muzannyi wa mizannyo?

Nzannya emizannyo, ffirimu n’okukola ogw’obwogezi ku mikolo.

 

Era obulungi bw’oliko, tebayinza butakusasulira kukulabako?

Mbu ky’ogamba bwe baku­tuma abalungi otwala nze?!

Nkutidde, ye lwaki teweesi­mbawo ku bwannalulungi bwa Uganda?

Wabula ojja kunkozesa ensobi!

Ng’oggyeeko amagulu amalungi g’olina , kitundu ki ekirala ku mubiri gwo nga naawe okyewulira?

Yiiyi, n’amagulu wagalabye dda?

Sooka onziremu kiri, nkubuuze n’ekirala

Eriiso lyange nange nnanny­ini lyo linkuba okufa obufi.

Ate omwagalwa wo ye aku­gamba nti osinga kumuku­bako ki ku mubiri gwo?

Sirina yali ansabye bufumbo mu butongole.

Ky’ogamba tolina muntu?

Ngwa mu kiti ky’abalina es­suubi.

Abo be baliwa?

Kitegeeza nnina abamperer­eza naye tekuli y’antaddeko mpeta era nnina essuubi nti luliba olwo Katonda n’anfunira owange.

Singa Katonda aba waaku­kuwa, oyagala akuwe kika kya musajja afaanana atya?

Nneetaaga omuntu atya Ka­tonda ananjagala nga bwendi ate ng’ampa ekitiibwa.

Mbuulira ku ffirimu n’emizannyo bye waakazan­nya?

Kuliko ‘Sesiria’, ‘Prestige’, ‘Ssanyu’, ‘Omuntu mu buntu’, ‘Cease Fire’ n’emirala mingi.

Ozannyira mu kibiina ki?

Sirina kya nkalakkalira wadde nsinga kubeera nnyo mu Theater Factory.

Bw’oba toli mu kuza­nya mizannyo, biki by’onyumirwa okukola?

Njagala nnyo okutambula mu bifo eby’enjawulo, okuwuli­riza layivu bbandi n’okulya.

Byakulya ki ebyo by’osinga okwagala?

Matooke, muceere, lumonde n’ekyennyanja ekibisi.

Oba nkutwaleko ku ky­emisana olye ku kyennyanja ekibisi?

Weebale nnyo mukwano naye ekizibu obudde nni­nawo butono.

Kati bw’ova eyo odda wa?

E Mengo gye mbeera mun­nange.

Mbuulira ku linnya lyo nkuviire

Nze Shanitah Love Akand­inda

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});