Ssentebe we Wakiso atabukidde abavunaanyizibwa ku kugema omusujja gwa Yellow Fever
Apr 04, 2024
SSENETEBE wa disitulikiti ya Wakiso Matia Lwanga Bwanika atadde akuliira abakozi mu disitulikiti ye Wakiso Alfred Malinga ku nninga annyonnyole kiki ekiremesezza okuwa abakozi abakola ogw’okugema abantu omusujja gw'enkaka (Yellow Fever) ssente mu disitulikiti.

NewVision Reporter
@NewVision
SSENETEBE wa disitulikiti ya Wakiso Matia Lwanga Bwanika atadde akulira abakozi mu disitulikiti ye Wakiso Alfred Malinga ku nninga annyonnyole kiki ekiremesezza okuwa abakozi abakola ogw’okugema abantu omusujja gw'enkaka (Yellow Fever) ssente mu disitulikiti.
Bwanika yagambye nti abasawo emirundi mingi bazze bakozesebwa mukugema nenteekateeka endala kyokka bwekituuka ku kubasasula nebifuuka bya kwegayirira.
Okwogera bino, Bwanika yabadde munsisinkano y’okutongoza okugema omusujja guno mu Wakiso nalaga okutya olw'abakozi abatumibwa okukola emirimu gya Gavumenti kyokka nga n’omusaala gwabwe okugufuna gubeera gwa mbirigo.
"Kikwasa ennaku okunenya omuntu lwaki abeera tagenze kugema bantu kyokka nga temwamuwadde yadde ekikumi kati ddala musubira anatambula atya, anaalya ki nebirara wakati mu kugenda okugema abantu.” Bwanika bweyemulugunyizza.
Wano akuliira abakozi Malinga weyasinzidde nategeeza nga ssente ez'okubasasula obuwumbi 2.5 ezaawebwa Wakiso nti weziri era bagenda kuzifuna munteekateeka yonna ey'okugema.
Okugema
Yagambye nti buli musawo akoze ssente ze agenda kuzifuna nga ziyita ku ssimu (mobile money) oluvannyuma lw'okulaga obukakafu nti akoze omulimu gw'okugema.
Kyokka Bwanika yabuzizza Malinga obukakafu obulala nti ssente weziri era Malinga nategeeza nti ziri mu process wabula nti ggo amafuta agatambuza abasawo wegali.
Ye atwala eby'enjigiriza e Wakiso Fredrick Kiyingi Kinobe yalabudde abatwala amasomero obutetantala kulemesa basawo kugema baana nti kuba eno enteekateeka ssi yakusooka kufuna lukusa nga bwekyali ku Corona.
Yagambye nti bagenda kufuna olukangaga lw'abakulu b'amasomero abawaganyadde nti bano bakukwasibwa ab'ebyokerinda bakangavvulwe mu mateeka.
Yakubirizza abazadde okujjumbira enteekateeka eno gye yagambye nti egenda kiyamba bbo abazadde n'abaana okubeera abalamu obulungi.
RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi yanenyezza nnyo ekitongole ky'ebyobulamu ku disitulikitine Wakiso okukola akabinja kaabwe akatateesa nabitongole birara ekiviriddeko enteekateeka ezimu obutajjumbirwa.
Yagambye nti abantu bangi babadde tebamanyi butya bwebagenda kugemwa ssaako ennaku z'omwezi mwebalina okugemera era obunafu nabuteeka ku kitongole ky'ebyobulamu e Wakiso olw'obutasomesa bantu.
Okugema omusujja gw'enkaka kwaatandise nga April 2 okutuuka April 8 ng'abantu abali wakati w'omwaka 1 okutuuka ku myaka 60 bebagenda okugemebwa
No Comment