Ddi emmotoka eziriko nnamba puleeti z’ebweru lwe zikkirizibwa okuvugibwa?

ETTEEKA erifuga ebyamaguzi wakati mu mawanga agali mu mukago gw’obuvanjuba bwa Africa (East African Community) erya 2004 likkiriza mmotoka okuyingizibwa mu mawanga ga nnamukago

Ddi emmotoka eziriko nnamba puleeti z’ebweru lwe zikkirizibwa okuvugibwa?
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
#Agafa ku bidduka #Motomart #Mmotoka #Nnamba puleeti

ETTEEKA erifuga ebyamaguzi wakati mu mawanga agali mu mukago gw’obuvanjuba bwa Africa (East African Community) erya 2004 likkiriza mmotoka okuyingizibwa mu mawanga ga nnamukago aba amalala ag’omuliraano nga ziriko nnamba ppuleeti zaazo.

Wabula kino kikolebwa oluvannyuma lw’okutuukiriza obukwakkulizo obwassibwawo nga Ibrahim Bbosa omwogezi wa URA okuva mu kitongole kya URA bw’annyonnyola.

Mmotoka eba erina okusooka okwanjulwa ku ofiisi za URA (Custom) mu kitundu mwegenda okuyisibwa era ebiwandiiko byayo ne biyungibwa ku mukutu gwa URA okusobola okugirondoola.

Mmotoka Okuli Nnamba Puleeti Z'amawanga Amalala.

Mmotoka Okuli Nnamba Puleeti Z'amawanga Amalala.

Mmotoka eweebwa layisinsi ey’ekiseera egikkiriza okuvugibwa ku luguudo ng’eno eba ya mwezi gumu wabula ng’esobola okuzzibwa obuggya emirundi ebiri awamu gye myezi esatu.

Buli mwezi mmotoka esasula doola 20 (eza Uganda 75,000) emyezi esatu ze doola 60 oba 225,000/-.

Ebbanga ery’emyezi esatu bwe liggwaako mmotoka eba erina okuzzibwa mu ggwanga gye yaggyibwa oba nnannyini okugusasulira omusolo n’essibwako nnamba ppuleeti za Uganda.

Kino bwe kirema etteeka liwa ekitongole kya URA oba ebitongole by’omusolo mu mawanga amalala gy’eba yatwalibwa olukusa okubowa n’okutunda mmotoka eno nga ssente ezivaamu ne zissibwa mu ggwanika lya gavumenti.