Agafa ku bidduka ; Ebintu 7 ebisobola okwonoona laadiyeeta y'emmotoka yo

Aug 07, 2024

LADIYEETA y'emmotoka ya mugaso nnyo kuba ekola emirimu egy'enjawulo nga ogusinga obukulu kukendeeza bbugumu eriva mu yingini,

NewVision Reporter
@NewVision

LADIYEETA y'emmotoka ya mugaso nnyo kuba ekola emirimu egy'enjawulo nga ogusinga obukulu kukendeeza bbugumu eriva mu yingini, n'erikuumira ku bbugumu esaamusaamu eritali lya bulabe.

Ladiyeeta bw'eba ennamu obulungi n'emmotoka etambula bulungi. Zino zirimu ebika nga muno mulimu ennene n'entono. Zino zaawulwa okusinziira ku kika ky'emmotoka.

Edward Kabira, makanika ku Dero Motors Ug Ltd e Kazo agamba nti ladiyeeta efuuwa empewo ekkakkanya ebbugumu eribeera mu mazzi agava mu yingini olwo ne gaddayo mu yingini nga gawoze. Eriko ebiwujjo ebiwujja empewo ennyogoza amazzi.

Makanika ng'alaga endabika ya ladiyeeta.

Makanika ng'alaga endabika ya ladiyeeta.

Ebiyinza okwonoona ladiyeeta

i) Okutalagga kw'ebyuma bya ladiyeeta. Kino kiviirako ebyuma ne coolant okuba nga tebikyakola bulungi. ii) Singa ladiyeeta ebeeramu ebicaafu ebisukkiridde, kigireetera obutakola bulungi. 

iii) Ladiyeeta okubuguma ennyo okumala akaseera. iv) Emmotoka okufuna obuzibu ng'akabenje kiyinza okuviirako ladiyeeta okugooma oba okujjako ekituli n'eyonooneka. v) Ladiyeeta bw'etwala ebbanga eddene nga tebagikyusizza kireetawo ebintu ebimu n'okunafuwa.

vi) Coolant bw'aba si mutabule bulungi mu birungo ebituufu kireeta empiira okutalagga ne zizibikira

vii) Akasaanikira ka ladiyeeta obutasaanikira bulungi oba nga kakaddiye kayinza okubuukako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});