Abaleeta amafuta mu Uganda basabiddwa okwekenneenya omutindo gwago
Dec 10, 2024
ABAGOBA b’ebidduka bawanjagidde kkampuni z’amafuta okufaayo ku mutindo gw’amafuta okwewala okwonoona yingini z’ebidduka byabwe.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAGOBA b’ebidduka bawanjagidde kkampuni z’amafuta okufaayo ku mutindo gw’amafuta okwewala okwonoona yingini z’ebidduka byabwe.
James Kasirye e Mpereerwe, yagambye nti, oluusi bagenda ku masundiro agamu abakozi ne batabawa bipimo bituufu bye basasulidde, ne basaba abakulira amasundiro okulondoola enkola y’emirimu y’abakozi.
Akulira Mtn Mu Uganda, Sylivia Mulinge Ku Kkono Ne Stan Mittelman Akulira Vivo Energy Mu Nsi Yonna Nga Balambula Supamaketi Eri Ku Ssundiro Lya Shell E Kiteetikka.
Nicholas Mujuzi, yeemulugunyizza ku mafuta ga kkampuni ezimu ezoonoona yingini z’emmotoka zaabwe bw’atyo n’asaba abaleeta amafuta mu Uganda okufaayo ku mutindo gwago.
Bino baabitegeezezza aba Vivo Energy bwe baabadde baggulawo essundiro ly’amafuta e Kitetikka ku luguudo lw’e Gayaza.
Akulira kkampuni eno, Stan Mittelman bwe yabadde atongoza essundiro lino erya 191 mu Uganda yategeezezza nga bwe bafaayo okuwa abantu amafuta agali ku mutindo.
Akulira kkampuni ya MTN, Sylivia Mulinge, yatonzeewo enkolagana y’okubagabira ‘data’ ku kkamera eza CCTV ku masundiro. Yalaze nti, kino kisobozesa emirimu okulondoolwa obulungi.
Omwogezi wa Vivo Energy, Valery Okecho yagambye nti, engeri gye baggulawo amasundiro bafaayo ku byetaago by’abantu nga bagasseemu n’obuyiiya.
No Comment