ABAVUNAANYIZIBWA ku kwekebejja ebidduka mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula balabudde abantu abalina enkola y’okukyusa nnamba puleeti z’emmotoka.
Ying. Kharim Kibuuka avunaanyizibwa ku kwekebejja ebidduka mu minisitule y’ebyenguudo yagambye nti nnamba puleeti enjeru ze zirina okuba mu maaso eza kyenvu ne zidda emabega.
Yagambye nti kimenya mateeka okukyusa nnamba ppuleeti eyakolebwa mu tteeka ng’erina kubeera mabega ate n’ogizza mu maaso.
Robert Kisakye munnamateeka wa minisitule eno agamba nti omuze guno guyitiridde era bonna abakikola balina okumanya nti kimenya amateeka.
Wabula mu kiseera kino nnamba puleeti empya ezigabibwa zonna zifaanagana eyemabeka n’ey’omu maaso.