Engeri gy'otegekera ebizimbisibwa obutayonooneka ku sayiti

Mar 15, 2025

ENKUBA etandise okutonnya wabula ng’abakugu bwe baalaze ejjiramu emikisa n’okusoomoozebwa azimba kwolina okwetegekera.

NewVision Reporter
@NewVision

ENKUBA etandise okutonnya wabula ng’abakugu bwe baalaze ejjiramu emikisa n’okusoomoozebwa azimba kwolina okwetegekera.

Abakugu okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku nteebereza y’obudde ekya Uganda National Meteorological Authority baalaze nti enkuba etandika mu makkati g’omwezi guno emaleko emyezi gya April ne May, 2025.

 

Omukugu mu kukuba pulaani z’amayumba n’okuzimba, Muhammad Nsereko agamba nti enkuba ejja n’okusoomoozebwa, kyokka bwobeera okwetegekedde bulungi kisobola okukuyamba okukekkereza ng’ozimba.

Okumu ku kusoomoozebwa okuleetebwa enkuba kwe kusima emirimu ne gitaggwa mu budde obwali butegekeddwa. Ebimu ku bizimbisibwa bimanyi okuseerera era abazimbi basobola okugwa ne bafuna obuvune. Olumu ettaka lyennyini n’ebizimbisibwa bimanyi okukulugguka ne bitwalibwa mukoka.

Ekimu ku byolina okutandikirako kwe kulaba engeri y’okukuumamu ebizimbisibwa ebigenda okusangibwa wabweru obutatwalibwa mukoka.

Kyetagaisa okutema emifulejje egitambuza amazzi ne gayita ebbali w’ebizimbisibwa.
Ebintu ebimu nga bbulooka n’omusenyu oyinza okuyiiya engeri gyobibikka ne bitatwalibwa mazzi oba okwonoonebwa.

Bwoba ebizimbisibwa ebimu olina wooyinza okubitereka okumala akaseera ne bitakosebwa nkyukakyuka ya mbeera ya budde nakyo kibeera kikola bulungi. Ebisenge ebizimbibwa nabyo kirungi okubisabikako ebintu ne bitatuukibwako nkuba butereevu.

Olwokuba ng’amakubo gatera okwonooneka, kirungi ebizimbisibwa byomanyi nti biva mu bifo ebitali birungi okubiggyayo nga bukyali. Bwolinda enkuba omulimu gusobola okwesiba olw’entambula okuzibuwala.

Okusoomoozebwa kw’amazzi okubaddewo olina okukulaba ng’omukisa gw’okutegeka woogenda okukuumira amazzi g’obwereere okumala ekiseera.

Osobola okugula ttanka y’amazzi oba okufuna ekifo ekirala kyonna w’osobola okukuumira amazzi.

Ennyumba bwoba ng’obadde omanyi nti eriko awatonnya, kirungi okuterezaawo mu budde buno nga tennatandika kutonnya. Amazzi agayita okumpi n’ennyumba funa engeri gyogawugula nga bukyali.

Olwokuba ng’abazimba babeera batono mu biseera by’enkuba, ebizimbisibwa ebimu bitera okukka ebbeeyi era bwosigala ng’ozimba oyinza okufunamu ennyo.

Nsereko agamba nti ekisinga obukulu kwe kwetegeka obulungi nga weerinda obuzibu obuyinza okuddirira kuba ebizibu ebisinga ebijja n’enkuba biba bimanyiddwa. Kirungi okwebuuza ku bakugu bakuwabule ku byoteekeddwa okukola ebituufu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});