Okucaajinga essimu mu mmotoka lwe kufuuka okw’obulabe
Mar 25, 2025
OKUSSA omuliro ku ssimu kuyite okucaajinga essimu mu mmotoka waliwo lwe kibeera eky’obulabe noolwekyo olina okubeera omwegendereza.

NewVision Reporter
@NewVision
OKUSSA omuliro ku ssimu kuyite okucaajinga essimu mu mmotoka waliwo lwe kibeera eky’obulabe noolwekyo olina okubeera omwegendereza.
Willy Serwanga, makanika agamba nti caaja z’essimu ezikozesebwa mu mmotoka zirimu ebika. Wabula, baddereeva bangi bamala gagula caaja ku makubo nga tebamanyi mutindo gwazo.
Caaja z’oku kkubo ezisinga ziba nkolerere ekiyinza okunafuya bbaatule y’emmotoka nga kiva mu kugatta waya z’omuliro oluusi eziba enkyamu. Ebimu ku bintu ebisinga okukosebwa caaja enjingirire kwe kuli:
1. Bbaatule: Zino zisangibwamu olutaneeta ng’eno eweereza amasannyalaze agacaajinga bbaatule agadda gali we gabeera gavudde. Bw’ogezaako okukikola ng’emmotoka tetokota ate essimu n’ogirwisaako, ebeera enywa omuliro mungi.
Kino bw’okikola emirundi egiddirihhana, kivaako bbaatule okwonooneka. Noolwekyo kirungi okucaajinga ng’emmotoka etokota.
Serwanga awabudde abavuzi b’emmotoka nti bw’oba oyagadde okucaajinga essimu nga yingini tetokota, tolina kusussa ddakiika 30, kubanga kinywa nnyo omuliro ku bbaatule. Kino kiri bwe kiti olw’ensonga nti ssinga oteeka ekisumuluzo mu mmotoka, obeera n’ebintu ebirala by’otaddeko okuli leediyo nga nabyo binywa omuliro.
2. Amafuta: Serwanga yategeezezza nti emmotoka ekozesa amafuta olw’ensonga nti yingini ebeera etokota newakubadde ng’ebeera tetambula.
Okucaajinga essimu ng’emmotoka etokota kikendeeza ku mafuta naddala ssinga okozesa caaja eteri ntuufu. Eno ebiseera ebisinga etta bbaatule ne kikukaluubiriza okukuba serefu. Buli lw’okoleeza mmotoka n’erwawo okwaka, amafuta ekozesa mangi n’ekivaamu kukendeera.
3. Kyokka caaja ezimu naddala enkolerere tezituula bulungi mu kifo we zirina kutuula era kino kireetera waya okukwata omuliro. Guno guyinza okubeera omutono naye tomanya kiki kye guliraanye ekiyinza okuvaako mmotoka okukwata omuliro.
Kw’otegeerera caaja embi ng’ogitadde mu mmotoka, evaako yindikeeta z’emmotoka okubeera nga zikubira kumukumu nga ezigenda okufa. Buli muvuzi w’emmotoka akubirizibwa okugula caaja entuufu.
No Comment