Ebintu 6 ebyonooneka ku mmotoka ng'amazzi gagiyingidde
Apr 01, 2025
EBISEERA bye tulimu bya nkuba era ebifo ebimu byanjaalamu amazzi agayinza okukosa emmotoka singa egayitamu.

NewVision Reporter
@NewVision
EBISEERA bye tulimu bya nkuba era ebifo ebimu byanjaalamu amazzi agayinza okukosa emmotoka singa egayitamu.
Juma Kawenja makanika ku Rapid Motors e Wandegeya agamba si kirungi kuyisa mmotoka mu mazzi gali waggulu wa mipiira.
Ekizoosi bw'ebulira mu mazzi ng’emmotoka eyise mu mazzi kiyinza okuvaako okwonoona ebintu ebyenjawulo nga;
1. Yingini okwabika: Amazzi bwe gabeera amangi emmotoka esika amazzi ne geetabula mu woyiro ali mu yingini. Kino kikyankalanya enkola ya yingini ekiyinza okuvaako okwabika oba okukwata nga tekola bulungi nga bweyandibadde ekola.
2. Sensa z’emmotoka zoonooneka: Amazzi bwe gayingira mu mmotoka goonoona Sensa. Zino zeziyamba okumanya embeera emmotoka mweri obubaka obwo n’esobola okubuddiza omugoba waayo n’amanya ekyokukola. Naye bwezonoonoka tomanya kikyamu kiri ku mmotoka.
3. Bbaatule y’emmotoka eyinza okwonooneka singa eyingiramu amazzi. Bwetayonoonekerawo obulamu bwayo obw’okuwangala bukendera.
4. Emmotoka bweyingiramu amazzi ebyuma biyinza okutalagga n’enafuwa mu nkola yaayo.
5. Kompyuta y’emmotoka nayo eyonooneka. Amazzi gakosa sisitiimu y’amasannyalazze g’emmotoka kino kisobola okugiviirako okuzikira.
6. Amazzi goonoona buleeki z’emmotoka n’etandika obutasiba bulungi. Olw’okuba amazzi gabaako bye goonoonye envuuma y’emmotoka ekyuka. Kawenja agamba emmotoka bwezikira olw’amazzi nga obadde ovuga kirungi n’otoddamu kugikoleeza.
Singa okizuula ng’amazzi gayingidde mu woyiro mukyuse osseemu omupya okwewala yingini okwonooneka. Wabula buli ddereeva yandyewaze okuvugira mu mazzi amangi agayinza okuyingira mu mmotoka mu biseera by’enkuba kuba gayinza okugiyingira ne gonoona ebintu ebyenjawulo mu kidduka.
No Comment