Envuga y’engombe ne kye kitegeeza ku mmotoka

Apr 15, 2025

Engeri eng’ombe y’emmotoka gy’evugamu nga ekubiddwa kyongera okukulaga embeera emmotoka gy’erimu naddala ku bungi bw’omuliro ogubeera ku bbaatule.

NewVision Reporter
@NewVision

Engeri eng’ombe y’emmotoka gy’evugamu nga ekubiddwa kyongera okukulaga embeera emmotoka gy’erimu naddala ku bungi bw’omuliro ogubeera ku bbaatule.

Abas Nsubuga, makanika ku S.G Garage e Luzira agamba nti omugoba w’emmotoka yenna alina okugenderera envuga y’engombe y’ekidduka kye kubanga eno ebeera ekolagana ne sisitimu ya bbaatule n’omuwendo gw’omuliro oguliko.

Yiino siteeringi okubeera engombe.

Yiino siteeringi okubeera engombe.

Ssinga omuliro gubeera mutono ku batule y’emmotoka , kitegeeza nti ehhombe ebeera ejj kuvuga nga evumbeera so ate singa bbatule ebeerako omuliro ogumala awo ehhombe ebeera ejja kuvuga mu doboozi lyayo ery’omwanguka.

Engeri sisitiimu y’eng’ombe gy’ekolamu.

Emmotoka ebeerako enfombe bbiri nga zino ziteekeba mu maaso mu boneti ku mmotoka nga zino zigisobozesa okuvamu omusinde ogw’amaanyi omuntu oba ekintu kyonna gwekisobola okuwulira nekivaayo mu kkubo.

Sisitimu y’ehhombe eno etandikira ku nkata y’emmotoka (steering) nga eno ebeerako waya ezitambula ne zituukira ddala mu Fuse box nga eno y’etuusa omuliro ku ngombe.

Ebyonoona engombe ne kw’olabira engombe efudde.

Okuyingiramu amazzi; singa ehhombe eyingiramu amazzi mu bubaati bwayo, kibuviirako okwegatta ne butalagga olwo ehhombe n’efa nga buli lw’ogikuba tesobola kuvaamu ddoboozi.

Okukaddiwa kw’engombe; Engeri engombe eno gy’ebeera ekozesa amasannyalaze, ekiseera kituuka n’ekaddiwa era ssinga ekaddiwa ebeera tekyasobola kukola bulungi.

Omuntu nga anaawangaaza engombe olina okugikuuma obulungi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});