SYLVIA Tamale, eyatandikira mu kutunda obuugi mu Ndeeba ku muzikiti ewa Diniya, kati atuusa sippeeya wa mmotoka okuva e China.
Slyvia, 38, musuubuzi wa sippeeya ewa Kiseka, annyonnyola engeri gye yeerandiza okuva ku ssepiki y’obuugi mwe yafumbiranga mu Ndeeba n’adda mu kutambuza juyisi kati atuusa sippeeya.
Sylvia Bwe Yali Afaanana Nga Yaakatandika Okutunda Sipeeya
AYINGIRA ATYA KAMPALA?
Mu 2007, ng’amalirizza okusoma, yatandika okunoonya ssente era 50,000/- ze yalina, yatandikamu bizinensi y’okufumba n’okutunda obuugi ne caayi.
Yali abikolera ku luguudo akawungeezi okuliraana omuzikiti gwa
Diniya mu Ndeeba era bizinensi eno yagimalamu ebbanga lya mwaka. Yakolanga bw’akung'aanya ssente era oluvannyuma n’ayingira akatale k’ewa Kisekka ng’omutunzi wa juyisi.
Sylvia Ng'ali Ku Mirimu Gye.
Yapangisa firiigi n’atandika okutunda ebyokunywa okwali juyisi, amazzi, sooda n’ebirala. Ebiseera ebyo yali asula Katwe gye yali apangisa.
Yeewa ebbanga lya myaka ebiri ng’avudde ku mulimu gw’okutunda juyisi era bwe
gyaggwaako yali aterese ssente n’ayingira sippeeya.
Sylvia Ne Bba David Tamale
YAKOZESA 1,000,000/- OKUYINGIRA OKUTUNDA SIPPEEYA
Anyumya nti yapangisa akaduuka ke, mwe yateeka obuuma bwa sippeeya bwe yasuubulanga nga n’ebimu byali tebikola wabula nga bamakanika be babimuwadde n’abitimba mu kaduuka okukola nga ‘disipule’.
Kasitoma bwe yajjanga n’asonga ku kitakola ng’agenda ew’omuntu, akirina ng’akimuleetera, ennaku zino kye bayita okuyiriba. Agamba nti ekimu ku byamuwanga amaanyi okuyiiya n’okukola ennyo, ng’akimanyi nti ku kibuga aliko ku lulwe era ateekwa okwerandiza.
Waayita ekiseera n’afuna omuvubuka David Tamale (eyali amuperereza nga kati yafuuka bba) nga naye baali bamukozesa mu dduuka erimu eritunda sippeeya. Baakwatagana mu by’omukwano ne mu bya bizinensi kyokka nga buli omu yasooka kusigala ng’akola bibye.
Sylvia Bwe Yali Ng'akyatunda Juyisi.
Agamba nti yatuuka ekiseera ng’awezezza kapito wa 6,000,000/- n’atandika okusuubula e Dubai era wano yalowooza ne ku ky’okufuna edduuka erisinga ku lye yalimu.
Mu 2019, ye ne Tamale baafumbiriganwa era baasalawo ne bagatta bizinensi zaabwe ez’okutunda sippeeya ng’okuva olwo tebaddanga mabega kati basuubula China era bw’otuuka ewa Kiseka, Slyvia Auto Parts y’omu ku basuubuzi ba sippeeya ab’amaanyi.
BY’AFUNYE MU KUKOLA ENNYO
l Ye n’omwami we baazimba amaka gaabwe e Nansana.
l Avuga mmotoka.
l Era basobola okuweerera abaana baabwe.