By’okola ne bikuyamba okukekkereza amafuta

EMBEERA y’ebyenfuna bweyongedde okukaluba mulimu abatakyakozesa mmotoka nga batidde bbeeyi y’amafuta. Mu mbeera eno waliwo ebintu by’olina okukola ebiyinza okwongera okukuyamba okukekkereza amafuta emmotoka gekozesa.

By’okola ne bikuyamba okukekkereza amafuta
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
#Agafa ku bidduka #Mmotka #Yingini #Dan Lubowa #Emmotoka

EMBEERA y’ebyenfuna bweyongedde okukaluba mulimu abatakyakozesa mmotoka nga batidde bbeeyi y’amafuta. Mu mbeera eno waliwo ebintu by’olina okukola ebiyinza okwongera okukuyamba okukekkereza amafuta emmotoka gekozesa.

Dan Lubowa makanika mu Ndeeba agamba nti waliwo ebintu ebiyinza okukuyamba okukekkereza amafuta nga;

i) Okuzikiza emmotoka mu jjaamu. Kino kikukolera okusinziira ku mbeera ya jjaamu. Bw’aba atambula oluvannyuma lw’eddakiika ntono wandibadde togizikiza kubanga bw’obeera ogizikizazikiza ate n’oddamu n’okoleeza mangu kiyinza okuleetera ebyuma ebimu okwonooneka kubanga yingini ekozesa amaanyi mangi nga ogikoleeza nga ne Terminal ya batule eyinza okubuguma n’eddirira.

 

Olina kuzikiza ng’olaba jjaamu mungi nga mumala eddakiika nga 20 okuseetuka.

ii) Okufuba obutassaako AC kuba bwebaako eyongera ku maanyi ga yingini kwetokoteka ekitegeeza okukozesa amafuta agawera.

iii) Okulabirira obulungi yingini nga saviisi ogikola mu budde.

Buli yingini y’emmotoka lw’ebeera mu mbeera embi kitegeeza n’amaanyi g’ekozesa gabeera mangi nga kino kibeera kigireetera okunywa ennyo mafuta.

iv) Okukendeeza ku misinde gy’emmotoka. Emmotoka gy’ekoma okubeera ku misinde emingi nayo gy’ekoma okunywa amafuta.

v) Emmotoka togitikka kisukkiridde gendera ku bipimo ebyagiweebwa kuba buli bwezitowa ennyo ekozesa amaanyi mangi ekivaako n’okukozesa amafuta agawera. Wabula waliwo emmotoka nga mu nkola yaazo zinywa amafuta mangi okugeraageranya ku ndala.