KKAMPUNI ekola nnamba puleeti za mmotoka empya ekya Virtus Global Security eraze engeri gye bakolamu emirimu gyayo ne bagamba nti, kati bongedde ku muwendo gwa nnamba puleeti ezifulumizibwa ng’omuntu ayagala nnamba empya asobola okugifuna mu ssaawa 48 zokka.
Avunaanyizibwa ku by’emirimu, Mubarak Kirunda yagambye nti, omuntu ayagala nnamba puleeti empya ng’alina empapula ezeetaagisa asobola okugifuna oluvannyuma lw’essaawa 48.
Nnamba Puleeti Enkole Nga Bwe Zibeera.
Kkampuni yatendese abapoliisi y’ebidduka 900 okumanya tekinologiya ateereddwa mu nnamba puleeti z’ebidduka mu kaweefube w’okulondoola abakozi b’ebikolobero.
Bino yabyogeredde mu kkolero lyabwe e Kawempe n’awakanya ebizze bigambibwa nti, emirimu bagikola kasoobo.
Azat Akmyradov, akwasaganya ebyensimbi n’enkolagana ne gavumenti mu kitongole kino-ITMS yagambye nti, tekinologiya assiddwa mu nnamba puleeti zino waakusomesa abantu okubeera ab’obuvunaanyizibwa beegendereze nga bavuga emmotoka kiyambe okulwanyisa obubenje.
Kkampuni efulumya nnamba ppuleeti 2,500 olunaku era okufuna empya ng’ova ku nkadde okozesa emitwalo 15 ku mmotoka ate emmotoka empya esasulirwa 714,300/- so nga ppikippiki ya 50,000/-.
Ate asudde nnamba puleeti n’etaddamu kulabika akozesa 150,000/- kw’ossa 49,000/- eza gavumenti.