Agafa ku bidduka : Obubonero kw'olabira ball Joint y'emmotoka eriko obuzibu

W’olabira ‘Ball joint’ y’emmotoka nti, efudde ebeera ezannya buzannyi nga buli emmotoka lw’ebeera ng’etambula nga katandika okwenyeenya nga kiyinza n’okuvaako akabenje.

Agafa ku bidduka : Obubonero kw'olabira ball Joint y'emmotoka eriko obuzibu
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Agafa ku bidduka #Mmotoka #Ball joint #Buzibu #Bubonero

BALL joint y’emmotoka kye kyuma ekigatta Hub okutuula omupiira ne Suspension plate nga eno y’etuulako ssekabuzooba y’emmotoka.

W’OLABIRA ‘BALL JOINT’ ERIKO OBUZIBU

W’olabira ‘Ball joint’ y’emmotoka nti, efudde ebeera ezannya buzannyi nga buli emmotoka lw’ebeera ng’etambula nga katandika okwenyeenya nga kiyinza n’okuvaako akabenje.

Ng’ebyuma byonna bwe bibeera ne ‘ball joint’ eno ekaddiwa n’eggwaamu amaanyi era n’etandika okulebera nga tekakwatagana bulungi na byuma ekivaako emmotoka okutambula nga ekubagana. 

Bwe kakolera ebbanga eddene kakaddiwa ne kakutuka era olukutuka emmotoka ebeera tekyasobola kuva mu kifo kubanga ebyuma bye kagatta bibeera tebiri wamu nga n’omupiira gusobola okubuukako ku mmotoka n’ekola akabenje. 

Omugoba w’emmotoka yenna buli lw’agenda okukola saaviisi alina okufuba okulaba nga ‘ball joint’ zino ziri mu mbeera nnungi nga tezinyeenya wadde.