FUFA erangiridde olunaku lw'okulonda Pulezidenti omuggya
May 04, 2021
FUFA’ ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga kirangiridde ttabamiruka w’omwaka omugenda okulonderwa Pulezidenti waakyo omuggya n’olukiiko olw’ekisanja ekipya(2021-2025).

NewVision Reporter
@NewVision
Ku wiikendi mu lukiiko olwakubiriziddwa Moses Magogo (Pulezidenti wa FUFA aliko), kyasaliddwaawo ligyoni y’ebuvanjuba bwa Uganda (Eastern Region Football Association) okukyaza ttabamiruka w’omulundi guno asuubirwa okutuula nga August 21, 2021 mu disitulikiti y’e Mbale.
Sam Bakiika eyali Ssentebe w'akakiiko akateekateeka okulonda mu 2017, ku kkono ye Edgar Watson akulira emirimu mu FUFA
Oluvannyuma lwa Magogo okukakkasa nga bw’agenda okuddamu okwesimbawo okuvuganya ku bwa pulezidenti ekisanja ekyokusatu eky’omuddiring’anwa, Allan Ssewanyana (nnannyini Katwe United FC ezannyira mu ligyoni ya Kampala) ne Mujib Kasule (Nnannyini Proline FC eya Big League) be balala abavuddeyo mu butongole okuvuganya ku kifo kino.
Akakiiko akaategeka okulonda kwa 2017 (2).jpg
Ono ye ttabamiruka ow’omulundi ogwe 97 bukya FUFA etandika kulonda ba pulezidenti baayo mu 1924.
Ba pulezidenti abazze bakulembera FUFA.
- (1924 – 1934)King Sir Daudi Chwa,(1935 – 1944)
- W.A. Hunter,(1945 -1953)
- W.B. Ouseley,(1954 – 1956)
- Eriasafu Nsobya,(1957 – 1962)
- W.W. Kulubya,(1963 – 1964)
- George Magezi,(1965 – 1968)
- A.A.A Nekyon,(1969 – 1971)
- Henry Balamaze Lwanga,(1972 – 1974)
- Kezekia Ssegwanga Musisi,(1974 -1976)
- Eria Mugisa,(1977 – 1979)
- Capt. Muhammed Sseruwagi, (1979 – 1980)
- Gerald Sendawula,(1981)
- Steven Ibale,(1982)
- Peter Abe,(1982 – 1983)
- Careb Babihuga,(1983 – 1985)
- Geresom Kagurusi,(1985)
- Chris Rwanika,(1985 – 1987)
- Barnabas Byabazaire,(1988 – 1989),
- Paul Katamba Lujjo(1989 – 1992)
- John Baptist Semanobe,(1992)
- John Ssebaana Kizito,(1994)
- Ben Kurtis Omoding Snr,(1994 – 1995)
- Moses Ali,(1995 – 1998)
- Hajji Twaha Kakaire,(1998 – 2004)
- Denis Obua,(2005 – 2013)
- Dr. Lawrence Mulindwa,(2013)
- Eng. Moses Magogo Hassim y’aliko.
Abakungu ba FUFA okuva ku kkono; Ahmed Marsha, Darius Mugoye, Moses Magogo ne Justus Mugisha
No Comment