Eya Big League egobye Bukenya n'emusikiza Ssekweyama

May 17, 2021

TTIIMU ya Terrazo and Tiles mu FUFA Big League basazeeko abadde omutendesi Micheal Bukenya lwa nnotisi enfu ne bamusikiza Robert Ssekweyama abataase ekyambe ky’obutaddayo mu ligyoni.

NewVision Reporter
@NewVision

Bano ng’eno ye sizoni yaabwe esoose mu Big League, ekitundu kya sizoni ekisooka kyakomekkerezeddwa nga tebafunyeyo wadde wiini emu bweti, mu mipiira 7 bakoze amaliri ga mirundi 3 ne babakuba 4, ekibakwebezza mu kibinja kya Rwenzori ku bubonero 3 bwokka.

Ekitundu kya sizoni ya Big League (2020/21) ekyokubiri kyaggyiddwaako akawuuwo ku Ssande (May 15, 2021). Wabula omutendesi Bukenya kyagenze kutandika ng’ebbaluwa emugoba emuli mu ttaano.

Bukenya

Bukenya

Bukenya eyafuumuddwa

“Tusazeeko nga ttiimu n’abakungu bonna abaddukanya ttiimu ya Terrazo and Tilea okusazaamu endagaano y’omutendesi Bukenya nga tukkaanyizza era ne tumusikiza Ssekweyama okulaba nga tubbulula,” ekiwandiiko okuva mu Terrazo and Tiles bwe kyategeezezza.

Terrazo and Tiles baggulawo ekitundu kya sizoni ekyokubiri ku Lwokuna lwa wiiki eno (May 20,2021) nga bakyaza Ndejje University e Kakyeka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});