Arua Hills ne Maroons balwanira ntikko ya Elgon

Apr 02, 2021

Bya GERALD KIKULWELEERO(Lwakuna) mu Big LeagueBlacks Power – Paidha B.A FC, AruaMaroons FC – Arua Hills, LuziraKataka FC – Gadafi FC, MbaleTerrazo and Tiles – Proline FC, KakyekaKigezi Home Boys – Ndejje Univ. FC, KabaleOLUVANNYUMA lwa Arua Hills okusanguliza ettoomi ku Mbale Heroes ku wiikendi, leero ezze eswakidde okwenywereza ku ntikko y’ekibinja kya Elgon.Leero (Lwakuna) bakyalidde Maroons FC eyasaliddwaako okuva mu ‘Super’ sizoni ewedde mu lutalo lw’okulwanira entikko kuba ttiimu zombi zeenkanya obubonero wabula Arua Hills esinzaako ggoolo emu yokka.Hussein Mbalangu atendeka Arua Hills agamba nti guno tegugenda kuba mupiira mwangu naddala nga banoonya okufuna wiini ya sizoni esooka ku bugenyi, wabula obumalirivu n’okukolera awamu bye beesigamyeko okufuna obuwanguzi.“Maroons balina obumanyirivu bwa ‘Super’ naye tugenda kubazannyisa bwongo okubaggyako wiini e Luzira,” Mbalangu bwe yategeezezza.Charles Ayiekho atendeka Maroons naye amwanukudde nga bwatagenda kukkiriza kubajjoogera waka kuba nabo obuwanguzi babwagala.Arua Hills eyali eyitibwa Doves All Stars FC sizoni ewedde yaakwesigama ku bazannyi nga Samson Ceaser Okhuti, Allan Mugalu, Alfred Leku n’abalala.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya GERALD KIKULWE

LEERO(Lwakuna) mu Big League

Blacks Power – Paidha B.A FC, Arua

Maroons FC – Arua Hills, Luzira

Kataka FC – Gadafi FC, Mbale

Terrazo and Tiles – Proline FC, Kakyeka

Kigezi Home Boys – Ndejje Univ. FC, Kabale

OLUVANNYUMA lwa Arua Hills okusanguliza ettoomi ku Mbale Heroes ku wiikendi, leero ezze eswakidde okwenywereza ku ntikko y’ekibinja kya Elgon.

Leero (Lwakuna) bakyalidde Maroons FC eyasaliddwaako okuva mu ‘Super’ sizoni ewedde mu lutalo lw’okulwanira entikko kuba ttiimu zombi zeenkanya obubonero wabula Arua Hills esinzaako ggoolo emu yokka.

Hussein Mbalangu atendeka Arua Hills agamba nti guno tegugenda kuba mupiira mwangu naddala nga banoonya okufuna wiini ya sizoni esooka ku bugenyi, wabula obumalirivu n’okukolera awamu bye beesigamyeko okufuna obuwanguzi.

“Maroons balina obumanyirivu bwa ‘Super’ naye tugenda kubazannyisa bwongo okubaggyako wiini e Luzira,” Mbalangu bwe yategeezezza.

Charles Ayiekho atendeka Maroons naye amwanukudde nga bwatagenda kukkiriza kubajjoogera waka kuba nabo obuwanguzi babwagala.

Arua Hills eyali eyitibwa Doves All Stars FC sizoni ewedde yaakwesigama ku bazannyi nga Samson Ceaser Okhuti, Allan Mugalu, Alfred Leku n’abalala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});