Tooro United eraajana lwa layisensi z'abazannyi

Mar 29, 2021

Egyazannyiddwa mu Big LeaguePaidha Black Angels 1-1 Mbale HeroesGadafi  0-2 MaroonsProline 0-1 Tooro UnitedLuwero United 1-1 NyamityoboraNdejje University 1-1 Terrazo and TilesWater FC 0-0 Kigezi Home BoysOMUTENDESI wa Tooro United eyasalwako okuva mu ‘Super’ sizoni ewedde, Edward Golola alaajana lwa basambi be 11 abatanafuna layisensi zaabwe ekimweraliikirizza ng’alwana okuzza ttiimu mu liigi ya babinywera.Wiiki ewedde yaggulawo sizoni ya Big League ng’akuba Water FC (2-1) ate eggulo(Ssande) yalumbye bannywaanyi be bwe baasalwako sizoni ewedde aba Proline FC n’abakuba omusumaali gwa ggoolo 1-0 n’ekajjala ku ntikko y’ekibinja kya Rwenzori n’obubonero 6.Golola agamba nti newankubadde emipiira gyabwe ebiri egisoose bagiwangudde naye balina eddibu ly’abazannyi abalina okuba ku ttiimu esooka naye tebalina layisensi.“Tukyegayirira FUFA okutwanguyiza ku Layisensi z’abazannyi 11 be twetaaga okuggumiza ttiimu yaffe, abamu baali tebalina ndagamuntu y’ensonga lwaki layisensi zaabwe zirudde,” Golola bwe yategeezezza.Ku Lwokusatu bakyalira Nyamityobora FC nga banoonya obubonero obw’omulundi ogw’okubiri ku bugenyi.Tooro ekulembedde ekibinja kya Rwenzori n’obubonero 6, eddiriddwa Proline FC (3).

NewVision Reporter
@NewVision

Egyazannyiddwa mu Big League

Paidha Black Angels 1-1 Mbale Heroes

Gadafi  0-2 Maroons

Proline 0-1 Tooro United

Luwero United 1-1 Nyamityobora

Ndejje University 1-1 Terrazo and Tiles

Water FC 0-0 Kigezi Home Boys

OMUTENDESI wa Tooro United eyasalwako okuva mu ‘Super’ sizoni ewedde, Edward Golola alaajana lwa basambi be 11 abatanafuna layisensi zaabwe ekimweraliikirizza ng’alwana okuzza ttiimu mu liigi ya babinywera.

Wiiki ewedde yaggulawo sizoni ya Big League ng’akuba Water FC (2-1) ate eggulo(Ssande) yalumbye bannywaanyi be bwe baasalwako sizoni ewedde aba Proline FC n’abakuba omusumaali gwa ggoolo 1-0 n’ekajjala ku ntikko y’ekibinja kya Rwenzori n’obubonero 6.

Golola agamba nti newankubadde emipiira gyabwe ebiri egisoose bagiwangudde naye balina eddibu ly’abazannyi abalina okuba ku ttiimu esooka naye tebalina layisensi.

“Tukyegayirira FUFA okutwanguyiza ku Layisensi z’abazannyi 11 be twetaaga okuggumiza ttiimu yaffe, abamu baali tebalina ndagamuntu y’ensonga lwaki layisensi zaabwe zirudde,” Golola bwe yategeezezza.

Ku Lwokusatu bakyalira Nyamityobora FC nga banoonya obubonero obw’omulundi ogw’okubiri ku bugenyi.

Tooro ekulembedde ekibinja kya Rwenzori n’obubonero 6, eddiriddwa Proline FC (3).

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});