Uganda Cup: Ndejje ekubye ebituli mu SC Villa

Apr 06, 2021

ABASAMBI ba Ndejje University 10 baalaze ebituli mu ttiimu y’aba SC Villa 11 bwe baabalumbye ku kisaawe kyabwe ne babakubirayo 1-0 mu mpaka za Uganda Cup ezaggyiddwaako akawuuwo eggulo (Mmande April 5, 2021).

NewVision Reporter
@NewVision

Stanbic Uganda Cup

Police 5-0 Calvary

Water 1-2 Wakiso Giants

Onduparaka 0-0 Luwero

Blacks Power 0-2 Bul

SC Villa 0-1 Ndejje University FC

Vipers SC 3-0 Busoga United FC

Terrazo and Tiles 1-1 Maroons  

Empaka zino ezirimu okudding’ana ziri ku mutendera gwa ttiimu 32, zagguddwaawo n’emipiira 7 ku bisaawe eby’enjawulo, wabula mu gw’abadde e Bombo, Nicholas Luzige owa Ndejje University, ddifiri Ali Ssabira Chelangati yamugobye ku kisaawe mu ddakiika eye 65 oluvannyuma lw’okuweebwa kkaadi za kyenvu bbiri.

Kino kyawadde abawagizi ba SC Villa essuubi ly’okufunayo ggoolo oluvannyuma lwa Brian Ssali okuteebera Ndejje 1-0 mu ddakiika eye 37, wabula Ndejje yeekunizza n’eremesa Villa okugiteebamu.

Ttiimu zombi zaakudding’ana ku Lwomukaaga ku ‘Arena of Visions’ amaka ga Ndejje University okufunako eyeesogga omutendera gwa ttiimu 16.

Leero (Lwakubiri April 6, 2021) emipiira emirala 6 ku bisaawe eby’enjawulo gya kuzannyibwa mu kikopo kye kimu ku mutender gwa ttiimu 32.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});