Kabenge tavuganyiziddwa , ayogedde ebiddako
Apr 29, 2021
Pulezidenti w’ekibiina ekigatta yunivaasite mu ggwanga mu mizannyo, Peninnah Kabenge Aligawesa akomyewo okufuga ekisanja ekyokutaano ekya Association of Uganda Universities Sports (AUUS) nga tavuganyiziddwa.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Silvano Kibuuka
Pulezidenti w’ekibiina ekigatta yunivaasite mu ggwanga mu mizannyo, Peninnah Kabenge Aligawesa akomyewo okufuga ekisanja ekyokutaano ekya Association of Uganda Universities Sports (AUUS) nga tavuganyiziddwa.
Ono era y’akulira emizannyo mu yunivaasite y’e Makerere ate era nga mumyuka wa pulezidenti w’ekibiina ekifuga emizannyo gya yunivasite z’ensi yonna ekya International University Sport Federation (FISU).
Ye ssentebe w’ekibiina ky’abakyala ba Africa abeenyigira mu mizannyo n’okugiddukanya ekya Africa Women in Sports.
Mu kulonda kw’oku Lwomukaaga luno okugenda okubeera mu Yunivasite e Makerere, Kabenge era ataavuganyizibwa ekisanja ekiweddeko agambye nti ku mulundi guno agenda kuweereza ekisanja ekisembayo kubanga aliko abantu bangi baagunjudde abasobola okumuddira mu bigere.
Ebifo bingi ebitavuganyiziddwaako okuli; omumyukawe, Vincent Kigenyi ava mu yunivasite ya UCU Mukono, omuwanika Paul Mark Kayongo owa Ndejje University, omumyuka w’omuwandiisi, Florence Nakaayi owa Ndejje University wamu n’akiikirira ba Ddiini ya ziyunivasite, Amos Tukamushaba owa Kabale University.
Ebifo ebiriko embiranye ky’ekyomuwandiisi ekiriko, Patrick Sebuliba owa Victoria University eyamanyika ennyo mu Nkumba, avuganya ne Hillary Kimbugwe owa MUBS ng’ono yaliko ddiifiri w’omupiira.
Bammemba basatu abatuula ku lukiiko luno nabo baakulondebwa kw’abo abana abeesimbyewo okuli, Aidah Namubiru owa IUIU, George Wagogo owa Kyambogo University, Agnes Baluka owa Busitema wamu ne Annet Kabasindi owa KIU.
Olukiiko luno era lutuulako abayizi babiri ng’omu Emmanuel Opal owa Makerere yayiseewo nga tavuganyiziddwa.
“AUUS kye kimu ku bibiina by’emizannyo ekiri wansi wa NCS era bajja kubaawo. Tusuubira okulonda okw’emirembe kubanga twasaba abaagala okwesimbawo nga bayitira mu Yunivasite zaabwe ne bakikola era okwewandiisa kwaggalwawo nga April 23,” Kabenge eyasangiddwa mu ofiisi y'e e Makerere bwe yategeezezza.
No Comment