Proline evumbedde ku Ndejje e Lugogo

Apr 23, 2021

OMUTENDESI wa Proline FC Anthony Bongole abuze okugwawo ekiggwo Ndejje bw’emulumbye e Lugogo n’emusuuza obubonero busatu ekiwanvuyizza olugendo lw’okwezza entikko y’ekibinja.

NewVision Reporter
@NewVision

Egyazannyiddwa mu Big League

Terrazzo and Tiles 1-1 Kigezi Home Boys

Arua Hill 2-2 Gadafi

Calvary 2-1 Paidha B.A

Mabale Heroes 0-1 Blacks Power

Luwero United 0-2 Tooro Utd

Proline 1-1 Ndejje University

Eggulo (Lwakuna) Proline yakulembedde omupiira eddakiika 86 (1-0) mu Big League wabula Ndejje bwe yagigasse mu y’e 90 (1-1) abawagizi n’omutendesi emikono ne bagiwanika ku mitwe, abalala ne gifuuka enkondo ku matama.

Proline yayingidde omupiira guno ng’eyagala kufunza ku bubonero obutaano Tooro United bw’ebakulembedde ku ntikko y’ekibinja kya Rwenzori wabula olugendo lweyongedde kuwanvuwa Tooro bwe yawangudde Luwero (2-0) ate Proline n’ekola amaliri (1-1).

Bongole agamba nti kimukoze bubi okusuula obubonero obubiri wabula ne yeegumya nga bw’akyalina essuubi nti entikko ajja kugifuna ssaawa yonna.

“Sinnaggwaamu maanyi era sigenda kuva ku mulamwa kuba twagala kuyitawo butereevu okukomawo mu ‘Super’ gye twasalwako sizoni ewedde era tugenda kulwana bwezizingirire,”Bongole bwe yategeezezza.

Proline eggalawo ekitundu kya sizoni ekisooka ku Mmande ng’ekyalidde Water FC e Kavumba.

Tooro United y’ekulembedde ekibinja kya Rwenzori n’obubonero 15 ate Proline yaakubiri(10)

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});