Twinamatsiko afunye wiini esooka n'abuukula
Apr 19, 2021
OMUTENDESI wa Kigezi Home Boys mu Big League Mark Twinamatsiko afunye wiini esooka mu mipiira etaano egya sizoni bw’akubye Nyamityobora (2-1) n’awera nga ttiimu bw’eteredde.

NewVision Reporter
@NewVision
Egyazannyiddwa mu Big League
Paidha B.A 0-1 Gadafi FC
Blacks power 0-1 Kataka
Maroons 0-1 Mbale Heroes
Arua Hills 1-0 Calvary
Tooro United 3-1 Ndejje University
Proline 1-0 Luwero United
Kigezi Home Boys 2-1 Nyamityobora
Water 2-1 Terrazo and Tiles
Kino kyaddiridde omuzannyi we Robert Santos Baluku okuweebwa kkaadi emyufu mu ddakiika eya 58, ne basigala abazannyi 10 mu kisaawe kya ‘Kabale Municipal Stadium’ ku Ssande(April 18,2021) bwe baabadde bazannya Nyamityobora FC.
Mu ddakiika eno Nyamityobora yabadde ekulembedde omuzannyo (1-0) ng’eyita mu Clinton Kamugisha era kkaadi emyufu yamazeemu abawagizi ba Kigezi essuubi wabula oluvannyuma yavudde wansi n’ewangula ng’eyita mu Norman Namanya ne Dickson Niwamanya Kihanga.
“Guno tuguggye magombe ate gungirizza ebintu bingi nenfuna ekifaananyi ekituufu ekigenda okututuusa ku mutendera gwa ‘Play offs’ kuba ttiimu eteredde nga buli kimu kisobokera ddala bulungi,” Twinamatsiko bwe yaweze.
Kigezi Home Boys yabadde ekwebedde mu kibinja kya Rwenzori n’obubonero 2, kati yasenvudde ekifo kimu n’edda mu kyomusanvu. Rwenzori kikulembeddwa Tooro United n’obubonero 12.
No Comment