Ebikkirizibwa ku muntu asiibye ebitatta kisiibo kye

OKUNAABA omubiri gwonna emisana................ 

Ebikkirizibwa ku muntu asiibye ebitatta kisiibo kye
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Kisiibo #Ramathan #Busiraamu
  • Okusenya amannyo.
  • Okuzannya ne mukyala wo emisana n’okumunywegera okutakutuusa ku kwegatta na kuvaamu mazzi agazaala.
  • Okuzannya emizannyo nga omupiira, okuwuga, okudduka n’ebirala.
  • Okwebaka emisana wadde kino si kirungi. Abasiraamu  nga basaala sunna

    Abasiraamu nga basaala sunna

  • Okugaba omusaayi n’okukubwa empiso eteri ya kuliisa n’okwetaaga okumira eddagala oba okulya.
  • Okunyumunguza amazzi mu kamwa n’okufeesafeesa mu nyindo. Wabula weegendereze amazzi obutagenda wala.
  • Okufuka amazzi agannyogoga mu mutwe olw’ebbugumu emisana.
  • Okukomba ku nva oba ekyokunywa bw’omala n’owanda tomira.
  • N’emirimu gyonna egyabulijjo nga si haraam ate nga tegikuviirako kusiibulukuka.