DISITULIKITI Kadhi wa Mpigi Butambala ne Gomba alaze Pulezidenti Museveni amateeka agalina okuyisibwa mu palamenti 11

DISITULIKITI Kadhi wa Mpigi Butambala ne Gomba Sheikh Abas Battiraagugumbudde abatisatiisa pulezidenti Museveni ku teeka lye bisiyagan'amusaba abayambe aliteekeko omukono kubanga bikontana ne diini.

DISITULIKITI Kadhi wa Mpigi Butambala ne Gomba alaze Pulezidenti Museveni amateeka agalina okuyisibwa mu palamenti 11
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya Paddy Bukenya

DISITULIKITI Kadhi wa Mpigi Butambala ne Gomba Sheikh Abas Battira
agugumbudde abatisatiisa pulezidenti Museveni ku teeka lye bisiyaga
n'amusaba abayambe aliteekeko omukono kubanga bikontana ne diini.

Bino Sheik Battira abyogeredde mu kusaala Idd ku muzigiti gwa Masijid
Noor eMpigi nasiima ababaka abayisizza eteeka erikugira ebisiyaga
kyokka navumirira abatandise okutisatiisa pulezidenti obutaliteekako
mukono kyagambye nti kikyamu.

Battira avumiridde ekikolwa kyokuvvoola abakulembeze n'asaba ababaka
abalondeddwa okulabira okugezaako okukolera abantu nga tebabaawuddemu
era n'asiima paliamenti ye 11 okuyisa eteeka erikkiriza eddiini
okugaba ebintu by'abagenzi.

Battira asabye abasiraamu naddala abasuubuzi okuwaangayo zzaaka
okusobola okukuuma emmaali yaabwe n'okugaggawala n'okusaala sswala ettaano
nga amateeka ge diisi bwegagamba.

Omubaka wa Mawokota North omulonde Hilary Kiyaga asabye abantu
okukomya empalana z’ebyobufuzi n'enjawukana basobole okuweereza abantu
bonna ababalonda n’abatabawagira kyenkanyi.

Ssentebe wa Mpigi Omulonde Martin Ssejjemba ayozayozezza abasiraamu
okutuuka ku Eid n'abakulisa okusomozebwa kwebayisemu okuli obulwadde
bwa Covid 19 n'embiranye ey'amaanyi eyali mu kalulu era ne yeyama
okubaweereza n’obwesimbu.

Omubaka omukyala owa Mpigi omulonde Teddy Nambooze asabye abasiraamu
okwongera okusabira abantu abaasibwa olwebyobufuzi bayimbulwe nasaba
nabasiraamu okugenda mu maaso nga beyisa nga bwebabadde beyisa mu kisiibo.