'Gavumenti eyalayidde erwanyise obuli bw'enguzi'

Ba Samuel Kanyike          DISITULIKITI Khadi wa Luweero, Sheik Ramadhan Mulindwa asabye gavumenti eyalayidde esse essira ku kulwanyisa obuli bw'enguzi ng'ekangavvula ababwenyigiramu omuli okubasiba n'okubagoba ku mirimu kuba bazza eggwanga emabega.

'Gavumenti eyalayidde erwanyise obuli bw'enguzi'
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Ba Samuel Kanyike          

DISITULIKITI Khadi wa Luweero, Sheik Ramadhan Mulindwa asabye gavumenti eyalayidde esse essira ku kulwanyisa obuli bw'enguzi ng'ekangavvula ababwenyigiramu omuli okubasiba n'okubagoba ku mirimu kuba bazza eggwanga emabega.

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero.

Mulindwa era asabye Abasiraamu ku mulundi guno baweebwe ebifo ebisava omuli obumyuka bwa pulezidenti, Katikkiro n'ebirala kuba abayivu nabo babalina.

Yasinzidde mu kusaala Idi ku muzigiti e Kasana mu Luweero n'asaba gavumenti eyimbule abaasibwa ku by'okulonda okusobola okukkakkanya abantu baabwe emitima baleme kutaataaganya kisanja n'okwewala okukwata obubi abantu omuli okubatulugunya kuba kitta ekifaananyi ky'eggwanga.

Yasabye Abasiraamu okugenda mu maaso n'okukola ebikolwa ebirungi nga bwe babadde bakola mu kisiibo, omuli okuyamba bannaabwe n'okusaala Juma.