Abasiraamu babakuutidde okusigaza empisa wadde ng'ekisiibo kiwedde!

Abasiraamu bakuutiddwa okusigala nga bampisa era nga bewala okusasanya ssente zaabwe mu bintu ebitabazimba wabula basigale nga bwebabadde mu kisiibo.

Abasiraamu babakuutidde okusigaza empisa wadde ng'ekisiibo kiwedde!
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Abasiraamu bakuutiddwa okusigala nga bampisa era nga bewala okusasanya ssente zaabwe mu bintu ebitabazimba wabula basigale nga bwebabadde mu kisiibo.

Bwabadde akulembeddemu okusaala Juma ku masjid Hussein e Nansana sheikh Sajjab Buyungo yasiimye nnyo abasiraamu olw'okuteeka ssente w'ebalaba ne baguliira imamu waabwe kapyata y'emotooka okumwanguyiza mu by'entambula.

Ye Imam w'omuzikiti guno sheikh Sulaiman Sseguya yasiimye nnyo abasiraamu okumutonera ekirabo kino nga bajjaguzza emyaka 5 bukya muzikiti guno gutandikibwawo.

Alabudde abasiraamu okwewala enjawukana mu by'obufuuzi nakinogaanya nti ye ayanirizza buli muntu okusaala kasita abeera nga ekigendererwa kye kutendereeza Allah.