Bano abeegattira mu kibiina ki Kamuwunga Fishing Community SACCO abakulirwa Ronald Ssemanda baabawadde ebikozesebwa okuli amaato amanene 2 ne yingini zaakwo, obutimba obw'omulembe, obukooti obukuuma omuntu obutagwa mu mazzi n'ebirala.
Omukungu wa FAO mu Uganda, Antonio ne minisita Ssempijja nga bakwasa abamu ku bavubi b'e Kamuwunga ebikozesebwa
Byabaweereddwa ekitongole ki Food and Agriculture Organization (FAO), mu Uganda ekikulirwa Antonio Querido naye abaddewo okubibakwasa ng'ayambibwako minisita w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja.
Ebintu ebyafuniddwa
Minisita Ssempijja yategeezeza nti kaweefube gwe baliko waakuddamu okuzuukusa omwalo guno ogwataataganyizibwa ennyo ekiddo n'ebisamba ebyaguziba nga kati bali mu kugwerula n'okuguzimba.
Yakuutidde n'akuutira abavubi okwongera okwewala envuba embi basobole okukuuma ennyanja n'obutonde bw’azo.