ABALIMI b'emmere eyanguwa bakubiddwa enkata ey'amazzi agabifukirira mu kyeya kibayambenga okukungulanga buli budde n'okwegaggawaza.
Amazzi gano gabatongolezeddwa minisita w'ebyobulimi,obulunzi n'obuvubi Vincent Bamulangaki Ssempijja ng'omukolo gubadde ku mugga Katonga e Bugomola, Lwabenge mu Kalungu.
Abalimi abakwasiddwa begattira mu kibiina kya Bugomola Intergrated Farmers Group Lwabenge ekikulirwa Benna Nnalusiba.
Ebyuma bino babisimbye mu mugga Katonga ng'amazzi bigapika okugatuusa mu nnyimiro nga byeyambisa amasanyalaze g'enjuba.
Gavumenti evugguiriddwa ekitongole ky'amawanga amagatte eky'ebyemmere ekya FAO nga Dr Antonio Querido y'akiikiridde nga pulojekiti emazeewo obukadde 260.
Abalala and ye RDC Caleb Tukaikiriza ne CAO Andrew Ocen, Ssentebe wa LCIII David Balemeezi Ssegawa n'abalala.
Min Ssempijja agambye nti ono y'omu ku kawefube wa Gavumenti gw'etadeemu amaanyi okuyamba abalimi obutafiirizibwa birime byabee nga byokeddwa omusana ne bafiirwa ssente ze babitaddemu.
Min Ssempijja agambye nti enkola ey'okufukirira ebirime bagirinamu n'ekiruubirirwa ky'okwaza emmere mu bitundu ate nokufisaawo ey'okutunda kuba akatale kebirima bya Uganda kagazi nnyo ebweru ng'ekitugyako gwe mutindo.
. Abalimi bano balima ennyannya,ebijanjaalo,emboga,green paper n'ebirala ng'obuzibu babadde babufunira mu budde bw'omusana byonna nga bikala ne bafiirwa.