‘Abalimira awafunda baakufuna ebyapa’

EKITONGOLE ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa enjala ekya The Foodand Agriculture Organization (FAO) nga kiri wamu n’ekya PELUM Uganda batandisekaweefube w’okulaba ng’abalimi abakolera awafunda bafuna ebyapa ku ttaka kwe balimira.

‘Abalimira awafunda baakufuna ebyapa’
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKITONGOLE ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa enjala ekya The Food
and Agriculture Organization (FAO) nga kiri wamu n’ekya PELUM Uganda batandise
kaweefube w’okulaba ng’abalimi abakolera awafunda bafuna ebyapa ku ttaka kwe balimira.

Enteekateeka eno yayanjuddwa Antonio Querido akiikirira ekitongole kya FAO mu Uganda bwe yabadde ku mwoleso gw’ebyobulimi mu Kampala.

Yagambye nti bakizudde ng’abalimi abasinga naddala abatalina bwannannyini ku ttaka
balemererwa okwewola ssente mu bbanka olw’obutaba na misingo.

Yagambye nti bakolagana ne Gavumenti okulaba ng’abalimi abatono bafuna ebyapa ku ttaka kwe balimira.
“Bw’otandika okulima n’oyagala okwewola, bbanka esooka kukubuuza oba ng’ettaka liryo. Bw’obagamba nti liryo nga bakusaba empapula z’oba tolina,” Querido bwe yagambye.

Stella Lutalo akwanaganya emirimu gya PELUM Uganda yagambye nti baagala Gavumenti eteekewo enkola y’okugaba satifikeeti ku bakolera ku ttaka eririko obwannannyini obw’awamu.