Bya Mukasa Kivumbi
EMIRIMU gisannyaladde mu ddwaaliro e Kawolo okumala akaseera abasawo bwe bafunye amawulire nti munnaabwe afiiridde mu kabenje. Kyokka obwedda bwe bakubira abasawo bano amasimu nga bazooka kuwakana era baamaze kutuusa mulambo mu ddwaaliro ne balyoka bakkiriza.
Abasinga amaziga g’abayiseemu olw’omukwano n’engeri omugenzi Emmanuel Gem Latim gy’abadde akolamu emirimu gye. Akabenje kaabadde Namataba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja ku Lwokuna.
Gem Latim abadde akola mu kitongole ky’abalina akawuka akalwaza mukenenya ng’era y’omu ku bakolera ekitongole kya Uganda Cares.
Eric Njala ow’amawulire ku kyalo Namataba awagudde akabenje yategeezezza nti, omugenzi yabadde ku pikipiki ng’ava ludda lw’e Kampala. Yabadde agezaako okuyisa, ng’ate waliwo mmotoka endala ekika kya Wish emuvaako emabega. Mu kuyisa mu maaso waavuddeyo mmotoka endala n’asibamu. Emubadde emabega yamutomedde n’agwa mu loole lukululana n’emulinnya omutwe.
Omugoba wa Lukululana ey’ekika kya FAO No. KCZ 264K /ZG 2938 olulabye ng’asse omuntu kwe kuyimirira mmotoka n’agibuukamu n’adduka.
Omugenzi Latim abadde ava wuwe e Namugongo ng’agenda ku Dwaaliro e Kawolo okukola. Alina basawo banne baayiseeko e Namawojjolo n’abakubira jjambo ne bamuddamu mu ssanyu kyokka oluvannyuma lw’akaseera katono bamusanze afiiridde mu kabenje.
Akulira eddwaaliro ly’e Kawolo, Dr. Kiberu agambye nti omugenzi abadde musajja mukozi ayagala ennyo omulimu gwe.