SC Villa akalulu ka Uganda Cup kagisudde ku Vipers

May 11, 2021

OBULULU bw'omutendera gwa Quarter fayinolo mu mpaka za 'Stanbic Uganda Cup' buwadde Vipers essuubi n'embavu ly'okuyitawo bwe bugisudde ku SC Villa gye yafutizza awaka mu liigi ya babinywera sizoni eno mu luzannya olwasooka e Kitende. 

NewVision Reporter
@NewVision

Vipers FC-SC Villa FC 

Express FC-KCCA FC 

Proline FC-BULFC and Kigezi Home Boys 

Wakiso Giants-Police FC 

Omutendera guno ogw'okukyalirang’ana gwasengekeddwa ku Lwokubiri ku kitebe ky'omupiira mu ggwanga ekya 'FUFA' e Mengo,wabula omupiira ogusinze okutunuulirwa gwe guli wakati wa Express ne KCCA ssaako n'ogwa Vipers abali ku ffoomu sizoni eno ne SC Villa abalabika nga bavuya mu liigi. 

Ekiwa Vipers enkizo kiri nti ffoomu gy’eriko abazannyi baayo bagoba kikopo kya liigi mwe bakubidde KCCA 2-1 e Lugogo basobodde okuggya obubonero 3 ku SC Villa sizoni eno bwe bagifukumula ggoolo 3-0 e Kitende. 

Mu ngeri y'emu Express eri ku ffomu ennungi, mu mipiira esatu egisembyeyo mu liigi ewanguddeko ebiri n'amaliri ga mulundi gumu ge yakola ne URA mu Stanbic Uganda Cup.Bakyaza KCCA eri ku ffoomu embi sizoni eno mu liigi eyakakubwa emipiira ebiri egy'omudirigana e Lugogo wansi wa Morley Byekwaso okuli Bright Stars (2-0) ne Vipers (2-1). 

Empaka zino zakuzannyibwa ku mutendera ogw'okukyalirangana wakati wa May 24-2 June,2021 nga era fayinolo yakubeera Masindi ku kisaawe kye Ssaza 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});