Abeewaniddeko nti mu Uganda yafuuse kizibu era mu kiseera kino teri amweriggyako mu kukuba bantu miziki egibaggyako situleesi zonna.
Endongo agikubidde mu NANA HOTEL LUKAYA mu ekikeesezza Olwokutaano nga yagituumye Mukulike Omuggalo.
Abakubye emiziki gye gyonna wadde ng'ennyimba ezimu bakira azikomya mu kkubo.
Bakira avaayo ku siteegi n'akkako mu badigize olwo ne lukoya nga bw'asoomooza ebyana bimunywezeeko mu kiwato kasita maama w'abaana yamuleseeyo awaka.





