Lutalo akubye ab'e Masaka omuziki ogulaludde bi maama!! ; Abamu beerippye ku loole okumulaba!
Sep 28, 2022
ABANTU b’e Masaka bazze mu bungi okuwagira omuyimbi David Lutalo ng’atongoza olutambi lwe olwa Kabisi ka Ndagala era ng’ekivvulu klino kyabadde mu Kibangirizi kya woteeri ya Maria Flo.

NewVision Reporter
@NewVision
Ku ssaawa 10:00 emiryango gyabadde giggudwawo era we zaaweredde esaawa essatu ng’emiryango gyonna gimaze okuggalwa anti ekifo nga kijjudde olwo endongo n’etandika okukaaba.
Bano abavubuka baawalampye loole okwerabira ku Lutalo ng'akuba omuziki.
Band aya Da Hares omuli abayimbi nga Bent Agie, Joram Kaweesa , Deozo,Charles Ssekyewa,Willy Mukaabya ne Kazibwe kapo be baasoose okusanyusa abantu.
Lutalo yalinnye ku siteegi ku ssaawa 4:00 era nga yatandikidde ku buyimba bwa ddiini. Yasoose kwebaza Katonda amuwadde omukisa ate n’abawa n’obudde obulungi obubayambye okukuba endongo obulungi.
Bino bimaama byabadde byeyagala mu kivvulu.
Ono yakubye ennyimba nga Mukama Katonda ggwe Afuga,Yesu Mukama. Nandikulese mu Kyalo, Kwasa, Ensi, Gunsitula n’endala era wano yasoose kuwummulamu.
Wano abayimbi abalala naddala bannamasaka okwabadde Eddy Kenzo, King Saha , Betty Mpologoma ,Mathias Walukagga n’abalala bawerekeddeko Lutalo.
Oba lwaki bimaama byettanira nnyo Lutalo!!!!!
Mu kitundu eky’okubiri. Lutalo yakomyewo ku siteegi wakati mu nduulu okuva mu bawagizi era yakomyewo ne mwana muwala Shakirah Shakirah ne bayimba oluyimba lwa Am in Love lwe balina bombi era bakira obwedda bayimbi bwe beeraga omukwano ecamudde ennyo abantu.
Lutalo yakubye ennyimba ze empya n’enkadde ppaaka ku lwa Kabisi ka Ndagala. Ekivvulu kya Kabisi ka Ndagala kyawagiddwa kkampuni ya Vision Group ekola ne Bukedde.
Omugagga Lwasa naye yabaddeyo mu kivvulu!
Shakira Shakira ali luno! Wano ng'anyeenya ku kiwato bwe baabadde bayimba bombi.
No Comment