Ebbugumu lyeyongedde mu kivvulu kya Bruno Betty owa Akayisanyo ku Bukedde TV1
Jul 20, 2023
Ebuggumu lyeyongedde mu kivvulu ki “Bruno Betty Experience, Katemba mu Binyaanyanyaanya.”

NewVision Reporter
@NewVision
Ebbugumu lyeyongedde mu kivvulu kya Bruno Betty owa pulogulaamu Akayisanyo ki Bruno Betty Experience Katemba mu binyaanyanyaanya eky’okubaawo Olwokutaano nga July 28, 2023 mu Kisaawe e Kajjansi. Abantu bongedde okumuwagira n’okuteeka ssente mu kivvulu kino.
Owa Qc E Nansana Ng'akwasa Bruno Ssente.
Ku bano kubaddeko aba QC pork Joint e Nansana abaaguze emmeeza emu ey’e 500,000/= ate n’abantu 30 abagenda okusooka okuyingira buli omu waakuwebwa omusito gw’ennyama.
Abalala abaawagidde ye mugagga Mutatina owa Vent Club e Nansana eyaguze emmeeza ya 500,000/= okwo gattako aba Bella Wine abaamuwadde bookisi za Bella Wine ssatu azigabire abantu abagenda okujja mu kivvulu.
Owa Sheehan Standard p/s e Lubaga yasasulidde abantu 30 tiketi za 300,000/= bayingire banyumirwe.
Kizito Owa Sheehan Standard Ps Lubaga Ng'akwasa Bruno Ssente.
Bruno agenda kuba awerekeddwako mikwano gye okuli Ssuuna Ben ne Mbaziira Tonny b’ebinyaanyanyaanya, Mesachh Ssemakula, Stabua Natooro, Paasita Wilson Bugembe, Spice Diana, Bakayimbira, Maurana ne Reign era nga naye kennyini waakusanyusa abantu.
Mutatina Ng'akwasa Buruno Betty Ssente..
Asabye abantu okujja bamuwagire ng’abanyumiza gye nvudde we era nga waakusookawo omupiira gw’ebigere wakati w’ababodaboda Kawuku ne bodaboda Kajjansi n’ogw’okubaka wakati wa bakyala ba katale k’e Kawuku n’ak’eKanjansi. Okuyingira kwa 10,000/= ne 20,000/= zokka ate emmeeza ya 500,000/=.
No Comment