Ykee Benda akubye byana biwala ebibadde bimwepikira akavvulu!

Aug 14, 2023

Omuyimbi Ykee Benda atimbye mwana muwala eyamulya obwongo ku mukutu gwe ogwa Facebook, yintaneeti n'ekankana!

NewVision Reporter
@NewVision

Omuyimbi Ykee Benda atimbye mwana muwala eyamulya obwongo ku mukutu gwe ogwa Facebook, yintaneeti n'ekankana!

Omanyi bassereebu ennaku zino nabo si ba mannyo wenu! Ebibaliko kati abasinga babitimba kyere ku mikutu emigattabantu wamma ggwe abawagizi baabwe ne babawaga, abamu ne babakeneka ate abandi ne babiyita emyerago!

Benda ng'awa mwana muwala 'peeke'

Benda ng'awa mwana muwala 'peeke'

Tubadde tukyali ku gwa ‘Wuhuwuhuwuhu’, ng’amba ono omwana wa Fangone Forest eyagamba nti tasobola kuvvunnamira ‘Pulinsipo,’ ate ne zireeta mwana mulenzi, omuvubuka envuumuulo, Ykee Benda, Boy so tender! eyabuzizzaako abaana ba yintaneeti obutuuliro!

Ykee Benda kyaddaaki amaze n’alangirira nga bw’ali mu mukwano era n’ateekayo n’ebifaananyi bya mwana muwala eyakula n’awola ku Facebook ng’amuwaana okufa!

Kyana kiwala ki ‘EMZ’ nga Benda bwe yakiyise okiyiwako amata n’oganywa! Kyabadde kinekaanikanidde mu kateeteeyi akadduggavu nga kakittippye bulungi ne kaggyayo ffiga yonna. Ka smile kaakyo kw’okomya amaaso n’otenda nnamugereka eyawunda n’amala! Era kati oyo yenna abisala nti omulungi tannazaalibwa aba tannatunula ku EMZ!

Lengera omwana w'omukazi ggwe!

Lengera omwana w'omukazi ggwe!

“Obulamu bwaffe bwonna tubumala tunoonya omuntu omu oyo atuwa ekigendererwa mu bulamu. Omuntu gw’osobola okukeera enkya n’obuulira ebikutawaanya ne by’ofunye nga waakazuukuka. Omukazi atya Katonda ate ng’ayisa bulungi buli muntu…….Omutima gwo mulongoofu nnyo….Nkwenyumiririzaamu leero na buli lunaku olukya. NKWAGALA NNYO EMZ,” bw’atyo omuyimbi bwe yawandiise ku mukutu gwe ogwa Facebook.

Abawagizi ba bbenda bamuyozaayozezza n’obubaka obumusanyukirako kyokka abalala ne basigala nga beebuuza oba ono gw’atimbye ye maama w’omwana we oba ‘ggaali mpya!’ Kino Kireka wa baana bawala ababadde beepikira Benda?

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});