Omukazi agambibwa okujingirira ebiwandiiko ne yezza emmaali ya bba nga tannafa avunaaniddwa mu kkooti.
Feb 16, 2024
OMUKAZI atawena eyajingirira ebiwandiiko bya kkooti n'afuna obwannannyini ku ttaka lya bbaawe newankubadde yali tannafa, atuuyanye nga bwe zikala
By Peter Ssuuna
Journalist @New Vision
OMUKAZI atawena eyajingirira ebiwandiiko bya kkooti n'afuna obwannannyini ku ttaka lya bbaawe newankubadde yali tannafa, atuuyanye nga bwe zikala bw'abadde akunyizibwa ku nsonga ezo oluvannyuma lwa baana b'omugenzi okumutwala mu kkooti ng'atunze ennyumba ya kitaabwe!
Omugenzi Jjagwe Bwe Yali Afaanana.
Harriet Ssanyu Babirye 48, omutuuze wa Kagagga Zzooni e Mutundwe mu Lubaga y'avunaanibwa emisango ebiri okuli ogw'okutaataganya ebintu by'omugenzi wamu n'okujingirira ebiwandiiko bya kkooti ekikontana n'ennyingo 268(1)(a) mu tteeka ly'obusika n'ennyingo 349 mu Ssemateeka w'ebibonerezo.
Ono kigambibwa nti mu November 2022 e Mutundwe Kiggagga zzooni, yajingirira ebiwandiiko bya kkooti enkulu e Nakawa ku ffayiro 825/2012 nti omulamuzi Wilson Musene yali amukakasizza okubeera ng’avunaanyizibwa ku ttaka ly'omugenzi Joseph Herman Jjagwe erisangibwa ku Kibuga Mutundwe bulooko 34, poloti 150 kyokka ng'ekiseera ekyo Jjagwe yali mulamu.
Babirye teyakoma okwo, yagenda mu maaso ekyapa ky'ettaka eryo n'akissa mu mannya ge oluvannyuma n'akitunza Johnson Bakulu Wanyana ku bukadde 150, ye n’afunako obukadde 100 era akyabeera mu nnyumba eno okutuusa ng'aweereddwa 50 asengukemu.
Amaka G'omugenzi Bwe Gafaanana.
Omu ku baganda b'omugenzi Jjagwe, Charles Njuba Nsimbe mu kkooti ya Nateete Lubaga Lubaga e Mengo ng'akaaba n'amaziga, yategeezezza Omulamuzi Adams Byarugaba engeri bino byonna gye byatuukawo abaabaddemu ne bawuniikirira!
Njuba anyumya nti muganda we omugenzi Jjagwe oluvannyuma lwa mukazi we omukulu okugenda mu America mu 2016, yasalawo okuleeta Babirye gwe yali yapangisiza omuzigo ebbali mu maka kuba yali amulinamu n'abaana basatu okuli kati ow'emyaka 25, 17 n'omwenda wabula agamba nti ono olw'aba okugayingira ebizibu ne bitandika okwesomba.
Nga waakayitawo emyezi ebiri gyokka mu October 2016, Jjagwe yalumbibwa obulwadde obwamuziba omumwa era n'afa mu December 30, w'omwaka ogwo mu ddwaaliro e Mengo.
Jjagwe N'omukyala N'abamu Ku Baana.
Abaana b'omukyala omukulu nga bakulembeddwa Jerome Lumala Jjagwe era nga bayambibwako omukuza waabwe Nsimbe, baddukira ku poliisi e Nateete ne baloopa omusango ku SD Ref, 103/22/12/2023 okwekubira enduulu nti muka kitaabwe yali atunze ennyumba yaabwe awatali ku bategeezaako.
Ali Barekye, munnamateeka wa w'abaana annyonnyola nti oluvannyuma ng'afunye okwemulugunya kw'abantu bano yasalawo okunoonyereza ku nsibuko ya bino wabula bye yazuula agamba byamukuba wala.
Yakizuula ng'omukazi yali yafuna obuyinza ku ttaka lino eriwezaako deesimoolo 27 mu August wa 2013 era yajingirira ebiwandiiko nti bbaawe yali yafa mu 2012 kyokka nga mulamu ate nga Jjagwe yafa mu 2016 era n'agenda ne mu kakiiko k'ebyettaka n'akyusa ekyapa n'akizza mu mannya ge mu 2022.
Mu kkooti Ssanyu yakkirizza nga bwe yawuddiisibwa bbulooka omu ku City Hall mu Kampala gwe yagambye nti yamusomeramu ddiiru eno okwezza ebintu by'omugenzi n'atuuka n'okwewa obwannanyi nga tannafa, kyokka bwe yabuuziddwa oba amanyi ebikwata ku bulooka ono n'ategeeza nti ennamba ze zaabulira mu ssimu nga takyazimanyi.
Harriet Ssanyu Babirye Mu Kaguli.
Ono eyabadde yaakamala wiiki emu mu kkomera e Luzira, yayise mu munnamateeka we, Lufunya & Co Advocates okusaba okweyimirirwa era n'akkirizibwa ku bukwakkulizo obukakali.
Yateereddwako okusasula obukadde 2 ezoobuliwo n'abamweyimiridde obukadde 10 ezitali za buliwo, obutaataaganya bajulizi ba ludda luwaabi, era ono yaweereddwa omwezi gumu okutuusa nga March 14, 2024 okuzzaayo ssente za Wannyana ekyapa kiddizibweyo mu mannya amatuufu ag'omugenzi Jjagwe wabula nga bwe kinaamulema, amateeka gajja kulamula.
No Comment