Ssekyewa ne Stecia bandiba nga baasigalamu akantu!

Dec 09, 2024

Charles Ssekyewa kabuze kata amalusu gamuyiike nga yeetegereza eyali muninkini we Stecia Mayanja mu kivvulu kya ‘Tugende mu kikadde.

NewVision Reporter
@NewVision

Charles Ssekyewa kabuze kata amalusu gamuyiike nga yeetegereza eyali muninkini we Stecia Mayanja mu kivvulu kya ‘Tugende mu kikadde.

Ababiri bano abaali ‘beefa ebitole’ baatuuka ne baawukana era buli omu n’akwata makubo ge.

Haruna Mubiru, Jose Chameloene Ne Ronald Mayinja Mu Kivulu Kya Tugende Mu Kikadde.

Haruna Mubiru, Jose Chameloene Ne Ronald Mayinja Mu Kivulu Kya Tugende Mu Kikadde.

Bazzeemu ne basisinkana ku siteegi y’emu era ne bayimba n’akayimba kaabwe aka Wabanswaliza akaacamudde ennyo abadigize ababadde baludde okubalaba bombi ku siteegi.

Omanyi Stecia ono abadde amaze emyaka ebiri n’ekitundu ng’ali ku kyeyo e Canada era ng’olwakomyewo kino kye kimu ku bivvulu bye yasoose okuyimbako.

Bakira Stecia akikinaza ekyensuti nga bw’atambula adda muli ate nga bw’akomawo abamu kye balaowoozezza nti yabadde alumya Ssekyewa alabe kye yasubwa.

Abamu Ku Bazze Mu Kikadde Ndowooza Eccuppa Yabasinze Amaanyi.

Abamu Ku Bazze Mu Kikadde Ndowooza Eccuppa Yabasinze Amaanyi.

Ssekyewa naye obwedda amaaso tegamuva ku kyensuti kya Stecia kyokka ate ng’amala n’amujerega. Abadigize abamu baagambye nti bano baabadde mu katemba nga buli omu kyabadde kimukolera ate abalala nti tomanya bandiba nga beesigalamu era nti abaali baagalanyeeko tobawakanira nti basobola okudding’ana.

Ssekyewa Ne Stecia Nga Bayimba.

Ssekyewa Ne Stecia Nga Bayimba.

Ekivvulu kino abayimbi abamu baabadde beekyanze okuyimba nga tebannasasulwa ssente zaabwe kuggwaayo kyokka oluvanyuma bonna baayimbye nga bangi ku bo bayimbye mu ngeri ya mulengo anti nga obudde ebivvulu we biggalirawo mu Kampala buweddeko.

Jose Chameleone, Ronald Mayinja, Haruna Mubiru, Godfrey Kibijjigiri, Mariam Mulinde, Sister Charity ne Betty Mpologoma be balala abaasanyusizza abadigize.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});