Hajji Kamoga ayanukudde Ssuuna Ben na bukambwe
Feb 26, 2025
HAJJI Muhammad Kamoga alaalise okutwala omukozi wa Bukedde Fa Ma era omutabuzi w’endongo Ssuuna Ben mu kkooti, olw’okumwogerako kalebule.

NewVision Reporter
@NewVision
HAJJI Muhammad Kamoga alaalise okutwala omukozi wa Bukedde Fa Ma era omutabuzi w’endongo Ssuuna Ben mu kkooti, olw’okumwogerako kalebule.
Mu bbaluwa eriko ennaku z’omwezi February 24, 2025, bannamateeka ba Kamoga aba Kusingura Tindyebwa & Co. Advocates, bagamba nti Ssuuna okuva mu July wa 2024, azze ayogera kalebule ku muntu waabwe n’ekigendererwa ky’okwonoona erinnya lye ne bizinensi ze.
Hajji Kamoga Bw'afaanana.
Baategeezezza nti ebigambo ebyo Ssuuna yabyogerera mu bifo eby’enjawulo okuli; Makutano e Nansana, Kampala, Mbarara ne bwe yabadde e Masaka mu kuziika nnyina.
Kamoga yawadde Ssuuna essaawa 24, amenyewo ebigambo byonna bye yayogera mu lujjudde.
Era baamulagidde okuliyirira Kamoga obukadde 900 olw’okwonoona erinnya lye n’obulala obukadde 10 ezisasaanyiziddwa mu bannamateeka.
Ssuuna Ben Ng'atabula Ebinyaanyaanya. Amuliraanye Ye Mbaziira Tonny.
Ssuuna yalabuddwa nti ssinga tateeka mu nkola ebiragiro ebyamuweereddwa, ajja kuwawaabirwa mu mbuga z’amateeka. Obutakkaanya bwa Ssuuna ne Kamoga bwava ku ttaka, Ssuuna lye yeekakasa nti ye yaligula n’azimba, kyokka ekyapa kyayo ne kifuluma ng’eri mu mannya g’abantu babiri ne maama w’omwana we.
No Comment