Kasalabecca

Spice Diana akutudde ne FUFA

Spice Diana akutudde ne FUFA

Spice Diana
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

HAJARAH Namukwaya gwe mumanyi nga Spice Diana, akutudde ddiiru n’ekibiina ekitwala omupiira mu ggwanga ekya FUFA.

Spice Diana yayitiddwa ku kijjulo ekyategekeddwa FUFA ku wooteeri ya Imperial e Nakasero ng’ekigendererwa kyakyo, kya kutumbula liigi y’omupiira gw’abakazi.

Ekitundu ky’omuzannyo gwa liigi eno ekyokubiri kiddamu nga February 21 era ze zimu ku nsonga ezaayisizza Spice Diana okuyamba okugitambuza n’okugimanyisa abantu.

Kyokka waliwo abawagizi b’omuyimbi Pia Pounds abagamba mbu yakubye omuntu waabwe ekikono, n’amulesa ddiiru eno mbu kuba ebbanga lyonna y’abadde awagira omupiira era ng’alina enkolagana enkwafu ne FUFA