Kasalabecca

Masembe ajaguza emyaka 25 ng’akuba emiziki gya Yezu

OMUKUBI w’ennanga era omuwandiisi w’ennyimba ezitendereza Katonda, Richard Masembe awezezza emyaka 25 bukya atandika kukuba miziki gya Yezu

Masembe ajaguza emyaka 25 ng’akuba emiziki gya Yezu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUKUBI w’ennanga era omuwandiisi w’ennyimba ezitendereza Katonda, Richard Masembe awezezza emyaka 25 bukya atandika kukuba miziki gya Yezu. Masembe, yasooka kuyimba nnyimba za nsi, eza Kadongokamu wabula Katonda n’amuyita amuweereze ng’ayita mu nnyimba era yagendako ewa Msgr. Expedito Magembe e Bukalango amusabireko. Eno gye yatandikira emiziki gya Yezu nga na kati akyali Bukalango aweereza Katonda. Mu mbeera y’okujaguza, ategese ekivvulu ku Pope Paul VI Memorial Hotel e Lubaga, ku Lwomukaaga nga July 4, ng’okuyingira kwa emitwalo 3 ne 10 ate ababede ba bukadde 2 emmeeza. Aliyo ne Betina Namukasa, Divine Love n’abalala.

Tags: