Kasalabecca

Endongo enyiye Zafaran

JOSEPHINE Nakyoonyi amanyiddwa nga Zafaran, endongo etandise okumuwunyira ziizi. Gye buvuddeko, yayabulira ekibiina ekya Swangz Avenue gy’abadde amaze emyaka 4 era ku mutimbagano n’ategeeza nga bw’atalina buzibu kuba yayawukanye nabo mu mutima omulungi. Wabula ebyaddiridde oluvannyuma, abamuli okumpi bagamba

Endongo enyiye Zafaran
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

JOSEPHINE Nakyoonyi amanyiddwa nga Zafaran, endongo etandise okumuwunyira ziizi. Gye buvuddeko, yayabulira ekibiina ekya Swangz Avenue gy’abadde amaze emyaka 4 era ku mutimbagano n’ategeeza nga bw’atalina buzibu kuba yayawukanye nabo mu mutima omulungi.

Wabula ebyaddiridde oluvannyuma, abamuli okumpi bagamba bimwennyamizza. Mbu baamugambye, talina ky’aba atwala ky’ataagenda nakyo okuli emikutu gye egy’emitimbagano n’ennyimba. Mbu era wano we yavudde okugamba nti ayimba layivu bandi, ebya CD yabivuddemu. Waliwo n’ebigambibwa nti n’erinnya lya ‘Zafaran’ nalyo ayolekedde okulyeggyako, yeetuume eddala okusinziira ku endagaano gye yakola ne Swangz.

Tags: