Eee... Muwala, kiki ekikutambuza ne bulifukeesi ya ssente ennene bw’etyo! Totya kugwa mu babbi baakuno?
Eno bulifukeesi gye nkutte si ya ssente. Erimu bintu bye nkozesa nga hhenda ku mulimu.

Nakimera Ng'anyumidde Make Up
Ky’ogamba bamakanika mwakyusaamu, bulifukeese mwe muteeka ebyuma bye mukanisa?
Eno bagiyita ‘make-up kit’, ebeeramu bye nkozesa mu kuyooyoota nsusu na ffeesi z’abantu.
Ndyose ne nkusanga, lwaki mubyula nnyo bakyala baffe ne balungiwa mu kkubo, ate bwe batuuka awaka ne babiggya?
Oyo abeera mubi bubi, ‘make-up’ abeera nga kanzaali ke bateeka mu nva okwongera okuziwoomesa n’okuzirabisa obulungi.
Kati eno gye nkusanze ogenda, olaga wa nkusitulireko?
Ng’enda Kyengera, gye mbeera.
Ate omwana wattu abeera wa eyo gye wamuleka yekka?
Omwana wange Briana Ssembuusi mbeera naye e Kyengera.
Ng’amba taata wa Briana...
Eyo gy’olaze tuveeyo kuba nze siri mufumbo ate sinoonya.
Omubiri oguliisa ki mwana ggwe?
Njagala nnyo amatooke n’ekinyeebwa.
Mpaayo omuntu omu gw’ogamba nti singa okwata ku kasente bw’oti, alina okulya enkoko ppaka bw’agikoowa?
Maama wange, Aginess Nakakembo, mmwaagala nnyo omukyala oyo.
Obudde bwo obw’eddembe otera kubumalako ng’okola ki?
Nnoonyereza ku nkola ya ‘make-up’ eriko.
Kati singa twawukana wano oli n’ajja n’antuukirira n’ahhamba nti akwagala ayagala kukuwasa, mmugambe biki by’oyagala?
Njagala omuntu alina empisa, wa buvunaanyizibwa, anantegeera ate nga mwetegefu okwagala abeewaffe.
Mu mikwano gyo gyonna gy’olina, mukwano gwo ki gw’ogamba nti wa ddala, muvudde wala ne bwe muyomba era temwawukana?
Rose Nattunda, ambeereddewo nnyo.
Kati bwe nnaaba nzizeemu okukusanga awantu wonna ndiyita mannya ki nooyitaba?
Nze Grace Nakimera.
Mpaamu akapera, obwedda simanyi ndi na muyimbi?
Amannya tufaananya mafaananye n’omuyimbi Nakimera naye simulinaako kakwate.