Ssenga

Ssanyu ; "Okufumbirwa omusajja akuba n'omuyombi, abirese asinga"

"Omusajja eyayagala mukwano gwange yammenya omutima love n'entama"

Ssanyu ; "Okufumbirwa omusajja akuba n'omuyombi, abirese asinga"
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

MUSAWO sooka onkwateko wano ku mutima mpulira nga ogwagala okubuukamu.
Ate omutima gubadde ki, nga sipiidi ojjidde mu nnene, mbuulira buzibu ki?

Anti mpulidde bakuyita musawo ate nga nange nina ekirwadde ekintawaanya eky’omukwano!
Musajja wattu ebigambo ng’ofukumuka bingi oyogera kuno na kuli, munnange nze nzijanjaba bantu sibudaabuda bali mu mukwano ate n’ekirala osanzeng'enda ku mulimu era weeraba.

Kale nga tonnagenda ndagirira gy’okolera naayitayo ne nkubuuzaako kasita tongobese mayinja mpozzi n’okumanya ku mannya go.
Sirina buzibu ku bantu bankyalira kasita babeera nga bazze n’ebigendererwa ebingattako. Amannya nze Bridget Kemigisha naye bankazaako lya Queen nga mbeera Muyenga.

Queen Ng'anyumidde Mu Kagoye.

Queen Ng'anyumidde Mu Kagoye.

Ddala tebalimba oli Queen, wasoma busawo ki tobeera ng’oli mulerwa omanyi nabo mpulira babayita basawo?
Hahaha nze nga nkyali muto nnyo okubeera mulerwa. Bamulerwa batera kubeera bakyala bakuliridde. Nze nasoma byakukola mu ‘Lab’ okukebera endwadde era gwe mulimu gwe nkola.

Nga toli ku mirimu, ebiseera byo eby’eddembe obimalako okola ki?
Nyumirwa nnyo okugendako awutu ne mikwano gyange mpozzi n’okubeerako ne famire yange.

Simanyi maama ne taata wabatwalira dda omuntu?
Nedda bambi ekiseera kikyali, nkyakola ssente siyinza kukeera mu bufumbo nja kubusanga.

Emyaka olina emeka egyo egitannatuuka kufumbirwa?
Nnina 23 gyokka.

Kintu ki omuntu ky’akukola n’owulira ng’omukyaye obulamu bwo bwonna?
Okumboggolera n’okumpaayiriza sibyetaagira ddala oli bwaba waakubeera mukwano gwange.

Bawala banno batera kukola mizeeki ng’obasaba beddeko?
Bakomye omuze gw’okutambulira mu kye batali olw’okuba balabye gundi akikola abasinga bafundikira bagudde ne ku bizibu bye batasobola.

Musajja wa ngeri ki gw’otayagala kwesembereza ng’ekiseera ky’okufumbirwa kituuse?
Omusajja akuba n’omuyombi okumufumbirwa abirese asinga.

Kya njawulo ki kyolina ku bawala bano abeeyita aba Dot Com?.
Nze ndi muwala eyeekolera ne nfuna kye nfunye okubeezaawo obulamu nga sitawaanyizza basajja.

Nsuubira wali oguddeko mu mukwano oba ng’ogulimu, kusoomooza ki kwe wali osanze mu mukwano?.
Siryerabira olunaku ggaayi lwe yammenya omutima ng’ayagadde mukwano gwange.

Bakazi banno bamanyi okwessaamu ensimbi ne baziwa abasajja okubanjula ewaabwe ggwe ekyo okisobola?
Sikisobola mukwano nga kiki ekimpapya okutuuka okukola ekyo omusajja bwaba mutuufu alina okunoonya ensimbi n’omwanjula mu bazadde olwo naye akubalamu amakulu naye bwe weeyanjula takuwa na kitiibwa aba alabanga gwe amwesibako.

Singa omusajja oyo yeevaamu n’akwanjula bwamala n’aleeta ekirowoozo akuzzeeko munno akuyambe ku mirimu nga tazze mu bya kukuta osobola okumuwa ekyanya?
Siyinza kukkiriza kubanga nze nkimanyi buli muntu yatondebwa ng’alina okubeera n’omuntu we amwagala era awo we ntambulira ne muviira.

Gwe tokimanyi nti omuwendo gw’abakazi mungi nnyo ku gw’abaami nga tebisobola kukwatagana kati bannamwe abamu obutafikkira balina kubagatta nga nkota ya mabidde.
Abo babagatte naye nze nsaba kimu Katonda ampe omuntu omumativu.

Baako obubaka bw'owa bakyala bano abeteseteese okwawukana n’abagalwa baabwe olw’obutabawa birabo na za kameeza.
Mbasaba bakimanye nti ensi we yatuuka bave mu kulowooleza mu kuweebwa.

Tags:
Ssanyu
Muwala
Bulungi
Nnalulungi
Ssenga